Akabbiro Mpologoma

OBUTAKA BW’AB’ENDIGA AMASAZA OMULI OBUTAKA N’EBYAFAAYO BY’ENDIGA

 Obutaka bw’Abendiga buno buli Mbaale mu Mawokota, ez’obutaka okutuula Abataka Abamasiga mu butaka bwabwe. Wewaawo waliwo n’obutaka bw’Abendiga obutali ku butaka obukulu e Mbaale. KYAGGWE, Abantu ba Katonda Abaasooka gye Baabeeranga Katonda ye yatonda Ggulu era nga Ggulu ono yazaala Nambi muka Kintu, Ssebunnya oluvannyuma eyafuuka Walumbe, ate ne Kayiikuuzi omununuzi w’ensi eno. Ggulu ye yavaamu abantu bonna abali munsi kuba ye taata wa Nambi mwe tuva. Wano Abaganda kye tuva tuyitibwa ‘Bazzukulu ba Nambi’. Embuga ya Ggulu mwe yazaalira abaana be bano eri mu Ggulu e Mukono mu Kyaggwe. Nambi yava mu mbuga eno okugenda okufumbirwa Kintu, omusajja mwe tuva era Abaganda mu ngeri yeemu kye tuva tuyitibwa ‘Abaana ba Kintu abataggweerawo ddala’, olumu ne tuyitibwa ‘Abazzukulu ba Kintu’ E Kyaggwe eriyo balubaale n’emisambwa egiwera mwe tuyita okwogera ne Katonda, era waliyo n’abasezi bangi nga wano we wava ebigambo nti ‘E Bukunja bakunja balamu, tebakunja miti’.Okusera emmere, n’abantu, n’okusera okw’okulya abantu kiva ku kulagajjalira ddiini yaffe olwo ebitambo n’ebyefuula mukoko mu bazzukulu ne bibakozesa ebyambyone sso nga mu ddiini yaffe embeera eno esobola okumalibwawo abazzukulu ne beeyagala. E Kyaggwe nate eriyo olusozi Wagala; n’ekibira Buvuma; n’abeeyo gye baddukiranga. Era mu buli bitundu mwabeerangamu ebifo bingi ewaddukiranga abantu. Eriyo n’olusozi lw’Abaliga oluyitibwa Ssi esibuka essiga lya Kibeevu. Ssese, Ensibuko ya Balubaale. Essaza lino lya byafaayo nnyo mu ddiini yaffe ey’Okusamira anti balubaale bangi gye basangibwa. Wanga eyali omwana wa Kintu nga kabona we ye Luboobi ali Ssese, Lubaale Musisi ekiggwa kye ekimu kyali Funvu e Ssese, Lubaale Wamala asibuka Ssese, Lubaale Sserwanga Mukasa omwana wa Wannema omukulu naye ali Ssese, Lubaale Kibuuka e Mbaale omwana wa Wannema owookubiri naye asibuka Ssese, n’abalala nga bwe Mu Butambala gye tusanga ejjinja Nakyejwe neddala Kasajja agali e Mabanga. Ekitali kirungi n’akatono ejjinja Kasajja lyatundibwa ab’enguudo ne balyasa okuzimba oluguudo oludda e Masaka. Ejjinja lino eririwo ligaba emikisa. E Butambala gye tusanga oluzzi olw’omukisa Munywa Kabaka Kintu we yayitira n’anywa ku mazzi bwe yali agenda e Magonga mu Busujju gye yakuba olubiri lwe. GGOMBA, essaza eryasuubuzanga omuzigo n’omunnyo era nga lya muliraano n’obutaka bwaffe e Mawokota ne Butambala Ssekabaka Kateregga ye yagatta Ggomba ku Buganda. Mu Ggomba eriyo omuvule omunene ennyo ate omuwanvu Mmindyesaala ogugaba emikisa nga wansi waagwo waliwo ekibbo ky’ebigali abazzukulu mwe bassa ebigali okusaba bye baagala. Mu Ggomba eriyo ennyondo ya Kiwanuka eyava mu Ggulu n’egwa yokka nga eri ku lusozi Golola awali olubiri lwaKabaka Mwanga II. Ennyondo eno nkulu nnyo kubanga bwe tuba ne bye twagala naddala ebitulemeredde gye tulaga okusaba amaanyi okubiwangula.Ku lusozi Mpalo esuubirwa okubaayo emisambwa mingi era nnazzikuna nga kikafuuwe okusennyaamu enku. Waliwo kye tuyiga ku Katonda, nti ayita mu bintu bingi okwoleka amaanyi ge, kale tetusaanye kwesulubabba bintu eby’enjawulo ebyoleka n’amaanyi agasusse obw’omuntu anti tomanya Katonda ayinza okuba ayise mu byo. E Ggomba eriyo ensozi Sogesi ne Kisozi; n’abeeyo baawoneranga okwo. BUWEEKULA, erimu ku masaza Kibuuka Omumbaale ge yawangula mu ntalo okuva ku Bunyoro eri omusambwa Nakayima Omuti Nakayima Nakayima oguli e Mubende ku lusozi Nakayima mu Buweekula gujjude emikisa.Omusambwa Nakayima gwabulira mu muti ogwo gw’olaba era nakati guliko