Ennono Y’obwajjajja Mu Ndiga

Ennono Y’obwajjajja Mu Ndiga

JJAJJAFFE YE MBAALE SSO SI SSEKKOBA -

Omukulu ayitibwa Jjajja w’ekika kyaffe eky’Endiga ye Mutaka Mbaale agalamidde e Mbaale mu kabira akali okumpi n’essomero eriyitibwa Kibuuka Memorial School, e Mpigi, Mawokota.

ABAANA BA JJAJJAFFE MBAALE -

Ekimubeeza Jjajja w’ekika ye nsonga nti Amasiga ekkumi n’omusaanvu (17) agali mu kika ky’Endiga gava mu baana omutaka Mbaale b’azaala mu bukulu bwabwe: 1. Ssekkoba 2. Ssekizimu Ndalu 3. Nambi Nabbosa 4. Bbosa Buvi Ssekkoba eyali aweereddwa Wannema ng’endobolo yadduka e Ssese nadda e Busanga Kkoome-Kyaggwe bwe yawulira nga omulwanyi Kibuuka muzzukulu we Kalyesubula gwe yalagirira Ssekabaka Nakibinge baamutta. Ssekkoba y’azaala Lutyabi, Lutyabi n’azaala Bbosa Wakikunga ow’e Mutungo-Kitiko, Kyaddondo nga Bbosa Wakikunga y’azaala Kalyesubula Lwomwa ow’akasolya eyasooka era avaamu abaana abana abakola amasiga amalangira omuli Sserunkuuma, Luwanga, Namusota ne Ssemiti. Noolwensonga eno, buli Muliga yenna, Omuganda, azzukuzibbwa Omutaka Mbaale, oba mu njogera endala, ekika ky’Endiga kisibuka mu Mutaka Mbaale agalamidde e Mbaale mu Mawokota. Ssekabaka Mulondo bwe yawa Kalyesubula Lwomwa, obukulu bw’ekika obwakasolya bwonna, obukulu obwo bwazingiramu n’obwajjajja. Eno ye nsonga lwaki omukulu w’akasolya Lwomwa mu kika ky’Endiga tumuyita Jjajja. Obukulu buno Obwalwomwa busimbidde ddala mu Jjajja Mbaale nga bw’olaba wano mu muti oguli wammanga.

 

OMUTI OGULAGA OBWAJJAJJA OKUVA MU MBAALE MBAALE

OBWAJJAJJA OKUVA MU MBAALE MBAALE

 

OKUSIKIRA OBWALWOMWA -

Abaana ba Lwomwa Kalyesubula abana baatuula ne bateesa era ne bakkiriziganya okusikiranga entebe ya kitaabwe Lwomwa Kalyesubula ey’Obukulu bw’Ekika ky’Endiga mu mpalo bo n’abaana baabwe era naguno gujwa bwe kiri mu masiga ago amalangira. Amasiga amalala ekkumi n’asatu (13) agatali malangira be baana n’abazzukulu abava mu batabani ba Mbaale ababiri Ssekizimu Ndalu ne Buvi Bbosa. Mu bo temuva Lwomwa era tewali mbojjanyi yonna. Kale twebaza abaatusooka olw’enteekateeka eyo ennungi etaleetawo kusowagana mu baaluganda, abako n’abeemikwano. Kale teebereza, kati we twogerera emyaka giyise mingi nnyo nga aaemateeka w’ekika kyaffe oyo akoleddwa, ate nga si muwandiike, kyokka olw’obwesimbu tewali yali avuddeyo nti yeemulugunya ku nteekateeka eyo. Kyakusaalirwa ebika ebimu biseeseetuse ku nnono. Abakulembeze mu bika obawulira nga bagujubanira entebe, n’ekivaamu oluusi kulya nsowole, ate olulala kukutula mu bika nga kati bitandise okumeruka. Guno mululu gwennyini, bwa nnakigwanyizi, obulina okulanyisibwa kubanga wayinza n’okubeerawo abakussaamu ensimbi nga bwe tulaba ku bizibu ebiri mu masaza agamu. Buganda si Yuganda ekola semateeka kumakya ate n’emwemenyebwa eggulo, era si Yuganda gye baddira ebyalo ne bifuuka disitulikiti. Nze akuwandiikira bino Yuganda baagintamya nasigala mu Buganda ne paasipooti yaabwe seetaaga ndifuna eya Buganda nga twewadde federo yaffe. Mwe mugira mwereega mwereega n’abataatuukako mu kisaakaate ne bafuuka abafuzi mulibuuka n’akabalangulo.

MBAALE ANYWA OLUZAALO, ENDIGA EGAZIWA -

Lwali lumu jjajjaffe Mbaale bwe yali nga avuba ensonzi mu Kkoba ne basisinkana ne Ndugwa ow’Olugave, emboozi bwe yagwa amakerenda, Ndugwa n’abuuza Mbaale nti olinayo omwana eka? Ko Mbaale nti bwondeka musajja wattu, omwana nga muggya wa? Ndugwa yamuddamu nti kankulagirire omusawo agaba oluzaalo. Ko munne nti nze amatu nteze. Ko Ndugwa nti omusawo ali Ssese, erinnya lye ye Wannema Mukasa. Nga alimu empewo bwe batamulaga muliro, waayitawo ennaku ntono, Mbaale n’alamaga olwe Ssese okunoonya ezzadde.Wannema Mukasa yasangibwayo bulungi era teyakalubiiriza Mbaale ng’amuwa ddagala lya luzaalo. Mu kumuwa eddagala yamugamba nti genda osimbe eddagala lyenkuwadde eriyitibwa Kalyesubula kyokka omwana gw’olisooka okuzaala ogenda kumumpa abeere ndobolo yange, nange manye nti nze nakuwa oluzaalo. Mbaale yagamba nti ayogedde gw’oludde. Eddagala teyalirwiisa n’alisiimba mu luggya lwe ne limera.lyali kye lijje limere, jjajjaffe omukyala n’afuna omwana mu lubuto. Okuzaala bwe kwatuuka yakubawo ddenzi.Mbaale mu ssanyu eringi omwana n’amutuuma Ssekkoba okkujjukira omugga Kkoba ogw’omukisa, Ndugwa mwe yamuweera amagezi agamufunyisa omwana.Ku Ssekkoba, jjajjaffe kwe yazza abaana bano: Ssekizimu Ndalu, Nnambi Nabbosa, Buvi Bbosa. Awo nno nga Endiga ng’egaziwa!

EDDAAME LYA JJAJJAFFE MBAALE

Jjajjaffe Mbaale bwe yali anaatera okufa n’ayita abaana be n’abategeeza nti mukulu waabwe Ssekkoba yali tayinza kumusikira kubanga yali musiige wa Wannema Mukasa e Ssese ng’alinayo obuvunaanyizibwa bunene. Bwe yamala okwogera ebyo, n’agamba Ssekizimu Ndalu nti naawe saagala onsikire kubanga wakola ekivve n’osobya ku mwannyoko Nnambi Nnabbosa. Kye nnava nkugoba nawano, mu kika sikugobyemu naye toyinza kunsikira olw’ekivve ekyo kyewakola. Muto wammwe Buvi Bbosa y’ajja okunsikira. Mbaale nate yagamba abaana nti baana bange njagala mukakase ekika era omuziro gwamwe. Baana bange temulyanga ndiga, Endiga gwe muziro gwange era gwe muziro gwamwe okuva leero n’ekiseera kyonna. Newankubadde nga mbadde ngirunda naye mbadde sigirunda lwakugirya wazira mbadde ngirunda lwakugyagala. Nammwe bwe MBAALE ANYWA OLUZAALO, ENDIGA EGAZIWA - 

munaabanga mwagala munaabeeranga n’endiga mu maka gammwe naye nga temuzikola kabi konna. Alirya endiga nga si mwana wange era nga si muzzukulu wange.Okuva olwo n’okutuusa kati, abaana n’abazzukulu ba Mbaale tebalya Ndiga. Oluvannyuma Mbaale teyadda ku bino nti Kye weetema olwadde, bw’owona tokiwa, yatuukiriza obweyamo bwe yawa Wannema Mukasa. Yasitula omwana we Ssekkoba n’amutwalira Wannema Mukasa okuba endobolo ye nga bwe yasuubiza ng’aggyayo oluzaalo. Eddagala ly’oluzaalo Mbaale lye yasimba mu luggya lwe lyamera ne livaamu omuvule omunene oguyitibwa Kalyesubula. Omuvule Kalyesubula guli kumpi nnyo n’essomero eriyitibwa Kibuuka Memorial School e Mpigi mu Mawokota, eryazimbibwa mumwaka 1910. Kigambibwa nti Abedda nga n’essomero telinnabaawo baatwalanga embuzi ne bazisiba ku muvule Kalyesubula nga mulimu n’abo abagenda okusaba oluzaalo. Oboolyawo ng’omuvule ogwasookawo si gwegwo oguliwo kaakano, anti emiti egimu gisuula ensigo ne zimera nga gyo givuddewo. EKIGGYA KYA MBAALE WAKATI MU BUSOZI EKKUMI Jjajjaffe Omutaka Mbaale bwe yafa yaziikibwa ku Katunnumba k’olusozi Lwasi okuliraana ekkanisa ye Mbaale. Ekiggya kya Mbaale kikuumibwa bulungi era kiriko amayinja agatakikkiriza kubula. Ku butaka bwaffe Abaliga e Mbaale, Mawokota kwe kuli n’omukyala w’omuzira Kyobe Kibuuka ow’ensikirano Nagalemedde, muwala w’omutaka Mbajja Omukerekere e Namayumba, Bulemeezi. Ensozi ekkumi ezetoolodde awo awaazikibwa Mbaale bwe butaka bw’Aliga obukulu.Ekitundu mweziri kye kiyitibwa Mbaale. Ensozi ze zino: 1. Olusozi Kkulumba 2. Olusozi Lwasi 3. Olusozi Bunnamweri 4. Olusozi Kitavujja 5. Olusozi Mpami 6. Olusozi Mmembe 7. Olusozi Sseenene 8. Olusozi Maziba 9. Olusozi Mpanga, Nakabiso 10. Olusozi Buyanga Mu butaka bw’Abendiga obwo temuli lusozi luyitibwa Mbaale, Jjajjaffe gwe tuvaamu y’ayitibwa Mbaale.Erinya lye lye lyabuna ensozi ezo ne Ggombolola yonna eya Mutuba I e Mpigi Mawokota. Waliwo n’ensozi ezirimu obutaka bw’Abendiga omutuula abataka nga bwe tunaalaba mu maaso mu ssuula ekwata ku butaka bwaffe mu bujjuvu