Emirimu egigenda mu maaso

EMIRIMU EGIGENDA MU MAASO

Olukiiko lw’ekika kyaffe olwa Kasolya, lwe lukiiko olusuubirwa obutabulamu wa ssiga n’omu. Katikiro w’ekika alubaamu, omuwanika alutuulamu. Muwandiisi n’omubeezi we nabo balubaamu. Abenyiriri, abempya abennyumba, abaana n’abazzukkkulu n’abantu abalala mu biti byabwe bajjumbira olukiiko luno olwakasolya.

Abaganda tugamba nti Akiika e mbuga, amala ensonga. Mu ngeri eyo enkiiko mu kika nnazzikuno nga ziyamba nnyo abakiise okumanya ebifa e Mmengo era n’ebifa ku bukulembeze obubeera waggulu.

Mu nkiiko z’ebika ng’abantu bayambibwa okumanya ensonga ezikwata ku bantu abeekika okugeza; okufiirwa, okuboolagana, ennyimbe ez’okwaba, n’endala eziri mu kkowe eryo.

Okuyita mu nkiiko nga wabeerawo abeekika okumanyagana, okuyambagana, okwewa amagezi ku byenkulaakulana, entambuza y’amaka, okusala emisango, wamu n’ensonga endala.

Ensonga eyalemanga ku mutendera ogumu mu kika nga bagyongerayo ku mutendera oguddako okutuukira ddala ewa kabaka.
Tulina okwongera amaanyi mu nkiiko zaffe ez’ebika ate nga tutambula n’omulembe Omutebi nga bwe guli. Gamba, buli lwe tusisinkana tulina okutunula mu kusoomoozebwa kw’abantu naddala okubakulaakulanya mu byenfuna nga tebavudde ku nnono zaabwe.