Tusooke Na Busatu
Mu katundu kano tujja kukkaatiriza okusookera ddala ku muziro gwaffe, akabbiro, n’omubala ate n’oluvannyuma nga bwe tunaagenda mu maaso tulage obutaka bwaffe, n’amannya agatuumibwa mu Ndiga.
ENNONO Y’OMUZIRO GWAFFE OGW’ENDIGA
Nga bwe twayogera, Jjajjaffe Mbaale yayagala nnyo endiga era yatambulanga nayo buli we yabanga alaze . Olwensonga eyo, yasalawo endiga efuuke muganda we era muganda waffe, era nga mu kyo tetusobola kugirya, yadde okugikola akabi konna.
ENNONO Y’AKABBIRO KAFFE AK’EMPOLOGOMA
Kigambibwa nti okuva edda okuva edda n’edda lyonna nti empologoma terya ndiga. Era nga eno y’emu ku nsonga ekuumisa endiga mu lugo omuli ente. Empoloma tewagula lugo lwa nte lulimu ndiga. Mu kifo ky’okuwagula olugo, entalyamenvu efuka mazzi ku mboobo yaayo, ne mansira mu Lugo. Olw’okuba omusulo ogwo gusiiwa nnyo, olwo ente zitandika okugulumba n’okusattira nga zidduka ekibabu, n’okuwagula ne ziwagula. Ebweru w’olugo empologoma gyezisanga nezituga!
Empologoma obutalya ndiga, yafuuka muganda waffe kuba naffe tetulya ndiga. Kyetuva tugamba nti mu mpologoma mwe twebbulira oba nti empologoma ke kabbiro kaffe.
OMUBALA GW’ABALIGA
Okuva ku Ssekabaka Kyabaggu, omubala gw’Abendiga gwakyuka kinene ddala. Nga Ssekabaka Kyabaggu tanalya Buganda, omubala gwavuganga bwe guti:
“Nakateete, Kinobe, Ssekkoba alaze e Busaanga. Kinobe bw’atalifa alirya Obweya. Liri limu eridda e Busamba”.
Ssekabaka Kyabaggu bw’amala okutuula ku Nnamulondo n’akkalira, yaleeza eŋŋoma ey’okuwaana nnyina Nalugwa Nabbosa. Nga evuga nti:
“Nnyabo Nabbosa mpaawo alimuliisa Ndiga …….” Nga wayise ebyeeya n’ebisiibo, enziriŋŋana y’ebigambo by’omubala ogwo yakyuka ne guvuga nti:
“Mpa alimuliisa Ndiga, Nabbosa Nabbosa, mpaawo alimuliisa Ndiga”. Ate era ekiseera bwe kigenze kiyitawo ebigambo ne byongera okukyuka mu mubala wabula go amakulu nga tegakyuse nti: NABBOSA,, MPAAWO ALIMULIISA ENDIGA
AMAKULU G’OMUBALA GWAFFE
Amakulu agali mu mubala gwaffe ge gamu ddala naago Ssekabaka Kyabaggu kwe yasinziira okuleegesa eŋŋoma ewaana nnyina Nalugwa. Omubala gwaffe gututugeeza okwagala n’okuwa ekitiibwa kya bannyaffe. Guno gwe mubala gwokka mu bika byonna by’Abaganda ogukola ekyo era ne gulaga okwagala okwo eri bamaama. Abendiga, mutabani waffe ono Ssekabaka Kyabaggu yatulekera ekkula ery’emirembe gyonna.
Ekintu ekirala Ssekabaka Kyabaggu kye yaleka alaamidde buli Muliga, kwe kubanga n’omutima ogwagala ekika kyaffe, n’okukikolerenga entakera. Anti omubala gwe yatulekera gwa Kika kyonna. Sso tegwakoma ku Ssekabaka Kyabaggu yekka eyali Omuliga, mutabani waffe.
Kinaategeerebwa bulungi nti mu Buganda newankubadde waliwo ekika Ekirangira omugwa abalangira n’abambejja, emiziro gyo baba beddira gya bannyaabwe. Leka nsuubire nti wano omusomi wange yenna ateekawo enjawulo wakati w’omuziro n’ekika. Wano enjawulo bw’oba ng’ogifunye olwo nno kino kiba kitegeeza nti olulyo olulangira abalubeeramu babeera n’ebintu bibiri; omuziro ku ludda lwa maama n’ekika ku ludda lwa taata. n’ekika.
Mu Kika ky’Endiga, omukulu w’ekika owakasolya talina mubala gwa njawulo ku ogwo ogw’ekika. Ffenna abaana n’abazzukulu, wamu ne bajjajja tulina omubala gumu, ensonga eno etwonera obumu, kitole.