Ekitiibwa kya Buganda
Okuva edda n’edda eryo lyonna Lino eggwanga Buganda Anti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe Okwetooloola ensi zonna.
Twesimye nnyo Twesimye nnyo…. Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuume nga.
Abazira ennyo abaatusooka Baalwana nnyo mu ntalo Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe Naffe tulyagalenga.
Twesimye nnyo Twesimye nnyo…. Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuume nga.
Ffe abaana ba leero ka tulwane Okukuza Buganda Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe Abafiirira ensi yaffe.
Twesimye nnyo Twesimye nnyo…. Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuume nga.
Nze nnaayimba ntya ne sitenda Ssaabasajja Kabaka Asaanira afuge Obuganda bwonna Naffe tumukuumenga
Twesimye nnyo Twesimye nnyo…. Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuume nga.
Katonda omulungi ow’ekisa Otubeere Mukama Otubunduguleko emikisa gyo era Bbaffe omukuumenga.