Emirimu Gy’abendiga Ku Kabaka

Emirimu Gy’abendiga Ku Kabaka

  • (1)Abendiga ffe tuzimba ennyumba “Buwunda” mu lubiri.

  • (2) Abendiga ffe tusiiga omuzaana Nalende Nalugwa mu lubiri.

  • (3)Abendiga ffe tukuuma amaato ga Kabaka: Wasswa, Nkenenyi, MbaligaKujemere, ne Mukwaanogwennyanja

  • (4)Ffe baseresi b’enju za Kabaka.

  • (5)Abendiga tulina omulimu munene ku mujaguzo

 

Entamiivu yaleegebwa Ssekabaka Kyabaggu mutabani w’Abaliga era nga ekubibwa Baliga abava mu ssiga lya Kibeevu e Ssi-Bukunja mu Kyaggwe ate nga ekuumibwa omulongo Sserwanga.Eno y’etabangula n’okutereeza ensonga eziba zisobye okusinziira ngeri ggy’eba ekwatiddwamu.

Entenga nayo egatta ekika ky’Endiga ku kabaka nga ekubibwa. Mulimu enkulu emu, enjonga ne nnamunjoloba era yakubibwanga mu ssanyu nga kabaka asanyuse nnyo.

Nnantakiikambuga egatta ekika ky’Endiga ku kabaka era ekubibwa omutaka ava mu ssiga lya Luwanga e Mbaale Mpami mu Mawokota (lino lye ssiga eddangira omuva omuwandiisi w’ekitabo kino).
Basajjanyaanya ekubibwa omuliga omutaka ava mu ssiga lya Mpungu e Bweya mu Butambala.
Kulembera: Eno nayo ya kika kya Ndiga era ekubibwa omuliga ava mu ssiga lya Ndalu e Mpanga –Nnakabiso mu Mawokota.

 

Abendiga ffe tukuba amadinda mu Lubiriri lwa Kabaka

 Abaliga abakola emirimu egy’ensikirano mu Lubiri

Omutaka Kyawamala, e Najjanakumbi, Kyaddondo, akuba engoma Nantakiikambuga. Ava mu lunyiriri lwa Ssemakayi, mu Mutuba gwa Kagulire. Akasolya k’enju ya kabaka bwe kamala okulasibwa, omuntu asooka okukanyuga enjole y’essubi ku kasolya ako, yabeeranga wa Ndiga era ng’ayitibwa Museresi.

Mu ssiga lya Ssekkoba, e Busanga Koome, Kyaggwe, mwe muva Kiwagu, ava mu lunyiriri lw’omutuba gwa Ssembuubi, akuuma amaato ga kabaka era abeera Ggombe, e Bukoba Kyaggwe.
Mu ssiga lya Ndalu, e Mpanga Nakabiso Mawokota , mu lunyiriri lwa Ssekalongo, mu mutuba gwa Ssekubunga, mwe muva akuba engoma Kulembera. Omuzaana Nalugwa Nalende ava mu ssiga lya Ssekasamba asiigibwa mu lubiri lwa kabaka, era akola emikolo ku Mujaguzo nga bagireega.

Omukulu Kamakya, mu lunyiriri lw’omutuba gwa Kayemba e Ssaka, akuba eŋŋoma Basajjanyaanya ne Batte -abo -abekyejjo Katambala ava ssiga lya Mpungu mu lunyiriri olw’omutuba Kayemba e Ssaka, Butambala nga y’akola omukwero gw’ennyumba “Buwunda” ezimbibwa mu lubiri.

Mu Ssiga lya Wakikunga, Kitiko Mutungo, Kyaddondo mwe muva akuuma eryato lya Kabaka eriyitibwa Kujeemere.