Ettaka Ly’ekika

Ettaka Ly’ekika

Abendiga, ku butaka bwabwe e Mbaale Mawokota, tebalinaayo ttaka ttongole lya butaka bwabwe mu kiseera kino era n’abamasiga ekkumi n’omusanvu (17) nabo tebalina ttaka ttongole ku butaka bwabwe buno.Kino kye kimu ne ku b’emituba, ssaako n’abennyiriri okuggyako abo abeekozeemu omulimu ne bazzukulu baabwe ne bafunayo ettaka nga baligula oba nga bazzukulu baabwe balibatonera.

Ekika ky’Endiga kyagula desimolo amakumi ataano ku muzingo gw’ettaka ogwo 8, ekibanja ekye 102 e Mengo ku kibuga, mu ssaza Kyaddondo ku Nnyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omu ku bajjajjange Pawulo Kikwanguyira Banadda Kiyingi omusajja omuzira ataayatiikirira ng’ali ne Yosefu Sserunkuuma Nkalubo owe Kamuli ne Erenesiti Kibuuka owe Kabowa, ne Kyobe Tito Ziritwawula owe Wampeewo be baateesa okugula ekibanja ky’ettaka mu kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga.Ekibanja kino baagula, awo ku lubalama lw’Ennyanja ya Kabaka e Mmengo. Tubeebaza nnyo basajja ba kabaka abo.

Ekyapa ky’Ettaka ly’Ekika kyaffe

Ettaka lya yafiisi y’ekika kwe yazimbibwa lya kyapa era nga ekyapa ekyo kiri mu mannya ga bataka, abamasiga basatu abalikuuma, ku lw’ekika ky’Ediga.

Abakuumi b’Ettaka lyaffe

Abakuumi b’ekyapa ky’ettaka balondebwa bulondebwa mu bamasiga ekkumi n’omusanvu (17), buli lwe wabaawo ensonga eyeetaagisa okulonda omukuumi oba abakuumi.

Si tteeka nti omukuumi ateekwa kuva mu ssiga gundi oba gundi oba yadde okulondebwa mu mpalo, nga bwe kiri mu kulonda Lwomwa. Bino we bigendedde okubaawo ng’amannya g’abataka ag’abakuuma ekyapa ge gano:

1. Owessiga Ssekkoba, Charles Sseruwule
2. Owessiga Ssekasamba, Michael Mbugaano
3. Owessiga Nakabaale, Mulisiyo Bbosa

Kyakusaalirwa bonsatule baatugendako dda !!! Olukiiko lw’ekika olwakasolya luteekateeka okulonda abanadda mu bifo byabwe.

 

Ettaka eryaweebwa Ekika ky’Endiga

Ekika ky’Endiga kyategeezebwa mu butongole nti omugenzi Ssalongo Kati Sserunkuuma, e Kitavujja Mbaale Mawokota , mu ddaame lye, yaleka awadde ekika ky’Endiga yika z’ettaka bbiri.
Ekika ky’Endiga kyategeezebwa nti ettaka eryo, eriri ku kyapa ekyalyo, liri awo ku nkingizi z’ekifo ekiyittibwa “mu kasaawe”, e Mbaale, Mpigi Mawokota.
Kirowoozebwa nti ettaka lino, terinnaba kuzzibwa mu mannya ga kika kya Ndiga. Kyokka waliwo esuubi nti ensonga enkulu ng’eno, Olukiiko lw’ekika ky’Endiga olwakasolya lunaagikwata mavumbavumba.