ENNONO, EBYAFAAYO N’ENKULAAKULANA Y’EKIKA KY’ENDIGA

Buganda. Nkonge Douglas Kiyinikibi™ Owoomutuba gwa Mpiima Akuuma omulongo (Olulira lwa Kabaka) wa Kagulu ye Nasera ow’e Busera, wa Ndiga era ali Mbaale. Olubiri teyalukyusa, yaluleka Sseenene era yeeri n’amasiro ge. Kigambibwa nti waaliwo ku Ssekabaka Mbaale mutabani wa Ggulu era muto wa Kagulu eyafuga ensi muwawa okuva mu mwaka ogwe 468 okutuuka nga mu gwe 483. Mbaale yakuba olubiri lwe ku lusozi Kkulumba (linnya lya Ndiga), awo e Mbaale era awali ekiggwa n’ekiggya ky’ekika ky’Endiga. Omulongo wa Ssekabaka Mbaale ye Mpungu(ono naye mu Ndiga mutaka nnyo). Omukuumi w’omulongo ye Nnakatandagira ow’Endiga. Mbaale yawangaala nnyo nnyo n’obulamu ne bumutama. Amasiro ge gali ku lusozi Kkulumba. Ebyafaayo bino ebiriraanya Ttonda ku Mbaale ate ne ku bakabaka okutwalira awamu kizibu okugamba nti byasibagana busibaganyi. Noolwekyo Mbaale ono eyali kabaka y’alabika okuba Mbaale jjajja w’Abaliga.Kati tugambe tutya nti tuli Balangira na Bambejja? Nedda, Leka ensonga tugitereeze tutu: Kinonoozebwa nti Ssekabaka Kato Kintu (1200-1230) ow’oluse lwa bakabaka olw’okubiri ebika bye yasangawo (omwali n’endiga) byali biteekeddwateekeddwa bulungi era nga byetwala nga obwakabaka obwetongodde okuva ku nju okutuuka ku kasolya. Bagamba nti ku Mutungo okwo kwe yazaalira omwana we Kalyesubula Kikonyogo. Kalyesubula bw’asikira kitaawe oluvannyuma, kwe kukulira ekika ky’Endiga kyonna, n’afuna n’erinnya Lwomwa. Okuva olwo erinnya eryo ne likala ku buli mukulu w’ekika ky’Endiga. Ensonga eyo yandibaamu omuzinzi kubanga mu kika ky’Endiga tusangamu essiga lya Wakikunga e Mutungo, Kyaddondo. Kalyesubula ye wuuyo owaffe gwe tumanyi era waliwo n’ensonga endala ezikwatagana mu bigambo ebyo, wewaawo gwaka nga musana kaakiro tabulamu. Tujja kutunuulira ku bigambo ebirala twongere okusengejjamu amazima.