EZ’ENNONO EZOMUZAALE

EZ’ENNONO EZOMUZAALE

Enkiiko ez’ennono ezobuzaale, mu Kika kye Ndiga zigwa mu biti mukaaga; waliwo enkiiko:

  • 1. Ez’ennyumba
  • 2. Ez’empya
  • 3. Ez’ennyiriri
  • 4. Ez’emituba
  • 5. Ez’amasiga
  • 6. Olukiiko olw’akasolya mu kika ky’ENdiga.

Abakulu baazo balina ennaku ze batuuzaamu enkiiko ezo. Abamu bazituuza buli mwezi, abandi bo ne bazituuza nga bo bwe baba balabye bwe kisaanira.

Olukiiko lw’okuntikko olw’akasolya mu kika ky’Endiga lwe lw’Omutaka Lwomwa olutuula buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi ku kkakkalabizo ly’ekika ettongole eryayogeddwako.

EMIRIMU EGIGENDA MU MAASO

Olukiiko lw’ekika kyaffe olwa Kasolya, lwe lukiiko olusuubirwa obutabulamu wa ssiga n’omu. Katikiro w’ekika alubaamu, omuwanika alutuulamu. Muwandiisi n’omubeezi we nabo balubaamu. Abenyiriri, abempya abennyumba, abaana n’abazzukkkulu n’abantu abalala mu biti byabwe bajjumbira olukiiko luno olwakasolya.

Abaganda tugamba nti Akiika e mbuga, amala ensonga. Mu ngeri eyo enkiiko mu kika nnazzikuno nga ziyamba nnyo abakiise okumanya ebifa e Mmengo era n’ebifa ku bukulembeze obubeera waggulu.

Mu nkiiko z’ebika ng’abantu bayambibwa okumanya ensonga ezikwata ku bantu abeekika okugeza; okufiirwa, okuboolagana, ennyimbe ez’okwaba, n’endala eziri mu kkowe eryo.

Okuyita mu nkiiko nga wabeerawo abeekika okumanyagana, okuyambagana, okwewa amagezi ku byenkulaakulana, entambuza y’amaka, okusala emisango, wamu n’ensonga endala.

Ensonga eyalemanga ku mutendera ogumu mu kika nga bagyongerayo ku mutendera oguddako okutuukira ddala ewa kabaka.
Tulina okwongera amaanyi mu nkiiko zaffe ez’ebika ate nga tutambula n’omulembe Omutebi nga bwe guli. Gamba, buli lwe tusisinkana tulina okutunula mu kusoomoozebwa kw’abantu naddala okubakulaakulanya mu byenfuna nga tebavudde ku nnono zaabwe.