Abamu Ku Baliga Abalala Ab’ebyafaayo Mu Nsi

M.B. Nsimbi yali wa Mmamba wabula bwe yali awandiika ku bika mu 1991 yakkaatiriza nti “Abaliga buli kye bakola tebasaaga”.Leka nnyongere okukkaatiriza ensonga eno ng’ankuggyirayo abamu ku baliga abakoze ebintu eby’ebyafaayo, ebizimba eggwanga lyaffe Buganda.

ABALIGA ABATALI BADDA

Omuliga Fred Ssebatta: Muzzukulu wa Lwomwa ono tayimba aleruka.

Omuliga Fred Ssebatta                                                                                                                                                               Omuliga Fred Ssebatta

Omuliga Lwomwa Eng. Bbosa Danieri: Ono ye Lwomwa, omusajja yinginiya omutendeke era nnannyini wa kampuni ya Transa & Bbosa Electricals. Wa ssiga lya Nnamusota e Maziba, Mawokota.


Omuliga Ssemukuutu Edward: Abadde katikkiro w’ekika okumala ekiseera. Musajja amanyi obulungi obuwangwa n’ennono era bw’atandika okubirombojja olabira ddala omusajja Omuganda atali mwangu kusanga mu biseera bino. Musajja muntumulamu nnyo.

Omuliga Kayigwa John Crisestomu Kiyingi: Abadde ssaabawandiisi w’ekika okumala ekiseera. Mwogezi wa ku mikolo kayingo era ava mu ssiga lya Luwanga, mu mutuba gw’enkulembera ogwa Mpiima, mu Lunyiriri lwa Nansambu mwensibuka.

Omuliga Dr. Andrew Kiyingi: Omulongoosa w’emitima omukenkufu ennyo eyo mu Australia. Yassibwako omusango gw’okutta mukyala we, wabula oluvannyuma n’aguvvuunuka. Yaddamu n’awasa omuwala omuyimbi era ensangi zino omusawo alabikira ne ku ntambi z’ennyimba ne mukyala we.

Omuliga Oweek. Kabuuza Mukasa: Omu ku baatandika ekibiina kya Baana ba Kintu, Minisita w’Entambula za Kabaka n’Okulanya.

Omuliga Nyonyintono Kikonyogo: Yaliko Govana wa Bbanka ya Uganda

Omuliga Dr. Suzan Kiguli : Alina PhD mu nnimi ne litulica era asomesa Makerere mu Yunivasite

Omuliga Ambasador James Kinobe: Yaliko Memba wa Palimenti e Katikamu, Minista ate munnamaggye. Wewaawo alina ensobi ze yakozesebwa ku nnyina Buganda, ng’awaana etteeka ly’ettaka kazaala bulwa.

Omuliga Prof. Lutalo Bbosa: Yali Vice-chancellor wa Kyambogo University, yali Ssentebe wa UNEB ate kati nga ye Ssenkulu wa Team Business College e Mengo nga ku Nkulungo ya Kabaka eya Nnantawetwa.

Omuliga Benon Luggya: Eyatandikawo Maganjo Grain Millers era nnannyini Midland College e Kawempe.

Omuliga Joyce Nakibuuka: Omu ku baddukanya kampuni ya Maganjo Grain Millers .

Omuliga Oweek. Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo: Meeya Lubaga Munisipaal era mukyala wa Eng. Ssebuggwawo taata omuto owa Maama wa Buganda Nnaabagereka Nagginda. Ekitegeeza nti Abaliga tuli ba maama ba Kabaka mu ngeri eyo.

Omuliga Mpungu Musa Kakomo: Akulira Masaka S.S. yatandikawo Mpigi Mixed S.S era yatumbula nnyo essomero lya Bulo Parents S.S mu Buambala, mukyala wange gye yasomera era eryo nga lye ssaza gye bamuzaala.

Omuliga Christopher Kalyesubula: Akulira Lubiri Nabagereka Primary School.Muwandiisi mu kika.Ava mu ssiga lya Kiguli e Sseenene era mutabani w’Omutaka Kiguli Kiyingi akulira essiga lya Kiguli.Omwami ono ayagala nnyo ekika kye era ategeera nnyo ebyobukulembeze naddala mu masomero.

Omuliga Wycliff Kiyingi: Munnakatemba ela Omuwandiisi w’ebitabo omuli Lozio Bba Ssesiria, Gwosussa Emmwaanyi.

Omuliga Ezekiel Luggya Lwasi: Yatandikawo Internal Institue of Business and Media Studies, yawandiika ekitabo ky’okwanjula.

Hon Asuman Kiyingi: Mukiise mu lukiiko lw’ggwanga mu Busoga

Oweek. Kaddu Sserunkuuma: Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda

Oweek. Sheik Ali Kulumba: eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda n’afiira ku mulimu ku myaka egisoba 80 ng’alinawo n’obusaba amata.

Omuliga Hon. Kiyingi Deo: Mukiise we Bukomansimbi mu Palimenti era ye mwami wa Oweek Florence Nakiwala Kiyingi

Omuliga Hon. Kafumbe Mukasa: Yaliko minisita w’ebyensimbi. Omuliga Aisha Nakiguli: Akulira Nabisunsa Girls’ School

Omuliga Dr. Sarah Nkonge: Alina PhD mu byenjigiriza, alina amasomero agawera omuli Kampala SS, era yaliko omumyuka wa meeya wa Kampala

Omuliga Oweek. Lule Sserunkuuma : eyali Ssaabalamuzi wa Buganda

Omuliga Bishop Dr. Balagadde Ssekkadde: Eyali Bishop we Namirembe.Musajja muyivu ddala era alina diguli ssatu be ddu.

Omuliga P. Kiyingi Bbosa: Munnamawulile wa Radio Kaboozi ku bbiri.Omusajja ono ayagala nnyo ekika kye ne Buganda.

Omuliga Bbosa Sserunkuuma: Muzannyi wa filimu omututumufu azannyira ku ttivvi n ya Bukedde mu muzannyo gwabwe omuganzi ogwa Zubayiri era ng’azanny nga Zubayiri.

Omuliga Wasswa Kiyingi: Muyimbi wa nnyimba za ddiini nga Mukama Jangu ombeere n’endala.

Omuliga Alice Nabatta: Mwannyina wa Fred Ssebatta.Omukyala ono wa kadongokamu.
Omuliga Kalyesubula: Omupiira agukyangira mu ttiimu ta ggwanga.
Omuliga Sserunkuuma: Omupiira agukyangira mu ttiimu ta ggwanga.
Omuliga Kiyingi John: Muyimbi wa nnyimba za ddiini nga Singa Teyali Oyo, n’endala.

Omuliga Lumu David: Muyimbi wa nnyimba za ddiini nga Ekintambuza Empola, n’endala.
Omuliga Lutalo David:Muyimbi wa maanyi ddala era alina ennyimba nga Kapaapaala, Yamba, Engumba Zaange, n’endala.
Omuliga Kiyingi: Eyaakafa ng’abadde muzannyi wa katemba mu Amalula ne mu IMAGINE

Omuliga Hajjat Hadijah Kinobe : Munnamawulile wa C.B.S Omuliga Paulo Bbosa , mutabani wa A.Bbosa era muzzukulu wa Pawulo Banadda Kiyingi.Bbosa ono musajja mukozi nnyo mu kampuni ya Uganda Cares ebudaabuda abalwadde ba mukenenya.Abeera Buziga mu Kyaddondo era ayagala nnyo ekika kye.

Omuliga Naluggwa Hatima Ssekaaya : Munnamawulire wa N.T.V
Nakiguli Christine:Muwala wa Damasco Kaggulire e Kyaliwajjala.Omukyala ono mukozi nnyo mu Yunivasite ye Kyambogo era ayagala nnyo ekika kye.Alina ebbaluwa ya PITMAN Mu buwandiisi
Omuliga Hon. Moses Ssemyano Kiyingi : yazaalibwa 1926 n’afa 1992 yasomera Buddo, Belham ne Tooting College e London.Mu1963 yali permanent secretary mu Minisitule ekola ku nsonga z’ebweru.Mu1966 yali directa wa IMF. Mu1973-1977 Minisita we’byenfuna.Mu1983 Ssentebe wa PTA eyasooka. Mu1989 Mukiise we Nakaseke mu NRC

Omuliga Efulansi Miriamu Lwalamukwano Musoke: yazaalibwa 16 – 03-1931, n’asomera Mengo Girls School. Aweerezza nnyo ekkanisa ya Lutikko e Namirembe nga omukebezi, asomesa n’abagole. Munna –Mothers’ Union

Omuliga Ssaalongo Douglas Nkonge Kaweesa e Bulamu: Yazaalibwa 1921 n’afa 1994, yasomera e Makerere, Namungoona ne Nkwanga mu Bugangazzi.Yatumbula essomero ly’e Kampiringisa eritebenkeza abaana mu mbeera ez’obuntubulamu .Yali musuubuzi e Wandegeya, n’e Bulamu ku lwe Mityana.Yali musajja mmekete era yazaala abaana abasoba mu 30 omuli n’abalongo emigogo ena.Nga bwe bagamba nti ‘Ekkerenda, liva ku lubaya’ ono ye taata wa Nkonge Douglas Kiyinikibi, akuwandiikira ebigambo bino.Wummula mirembe Taata.

Omuliga Omuzira Paulo Kikwanguyira Kiyingi Banadda: Yazaalibwa 1896 nafa 1968. Mutabani wa Samwiri Lwasi Buzaabo, ova mu ssiga lya Luwanga, mu mutuba gwa Mpiima mu lunyiriri lwa Nansambu. Yasomera Ndejje Junior school.Yayingira Kings’ College Budo. Yeegatta ku ssematalo eyazooka (1914-1918). Mu 1931 yeegatta ku Makerere Technical College. Yakulirako abakozi Abaddugavu mu Gavument ya Resident Buganda (Chief Native Administrative Secretary).

Yali muwi wa magezi owekyama owa Ssekabaka Daudi Chwa ll. Yawangangusibwa wamu ne banne mu bitundu bye Moroto ne Kitgum n’okusibwa e Luzira entakera nga bawakanya omuzungu okugezaako okubba ettaka (mailo 9000) n’okujolonga obwakabaka. Yali Ssaabawandiisi w’ekika ky’endiga 1937-1945.

Yali ssentebe w’olukiiko lw’ekika olwatuulanga mu maka ge e Makerere omulundi gumu mu mwezi enkola eno egenda mu maaso naguno gujwa ku nnyanja ya Ssaabalongo e Mengo buli lwamukaaga olusooka mu mwezi.Ye ne Yosefu Sserunkuuma Nkalubo, Tito Kyobe Ziryawulawo ne Erenesiti Kibuuka baagula ettaka ku nnyanja eyo awatudde woofiisi y’ekika. Yatereeza ennono, ensikirano, obulombolombo, n’ebyobuwangwa bw’ekika ky’endiga.

Muzzukulu wa Lwomwa ono yalina entomo etayogerekeka, omuzzanganda, mwoyogwaggwanga yennyini, kagezimunnyo, puliida w’omuntu w’abulijjo, kyokka omuntu ateekulembezanga era Dr. Ssekkadde ky’ava yamuwandiikako nga ‘Omuzira ataayatiikirira’

Omuliga David Buzaabo Kalumba Kiyingi:
Yazaalibwa 09-11-196. Mutabani wa Paulo Kikwanguyira Kiyingi Banadda era omusika we, ava mu ssiga lya Luwanga, mutuba gwa Mpiima olunyiriri lwa Nansambu. Yasomera mu Aggrey Memorial School.Yaliko kkalaani mu kitongole kya Gavumenti kyettaka.Yaliko omumyuka w’omuwandiisi w’byapa by’ettaka (Assistant Registrar of Titles). Yeegatta ku Bbanguliro ly’amateeka (LDC).Mu 1974 yeesogga Makerere University okusom diguli mu mateeka.

Yeegattta nate ku Bbanguliro ly’amateeka (LDC) okufuna ebbaluwa eyawaggulu emukkiriza okuwoza emisango mu kkooti. Mu 1978 yafuulibwa omuwandiisi w’ebyapa by’ettaka. Mu 1981 yeegatta ku Mugerwa & Matovu Co. Advocates.Yatandikawo Kulumba – Kiyingi & Co. Advocates.

Muzzukulu wa Lwomwa ono ku nsonga z’ettaka akwata ekifo kya kumwanjo nnyo kyokka ggwe akaayiirwa amazima tomwesembereza.Ye bba w’omugenzi Harriet Nakazaana Kiyingi eyali RDC w’eMubende, Muwala wa Erisa Musoke e Kyebando.

Omuliga Dr Dr Balubuuliza Kibuuka Kiingi:
Yazaalibwa 10-10-1944. Mutabani wa Paulo Kikwanguyira kiyingi Banadda ava mu siga lya Luwnaga mu mutuba gwa Mpiima mu lunyiriri lwa Nansambu. Yasomera Kisubi ne Makerere College. Yafuna diguli esooka mu bwa Yinginiya, Ing. (grad) Heilbronn, German.Okuva 1979 ne B.A. (London), M.A. (Bonn) mu 1989 n’afuna diguli eyookusatu eya Dr. Phil.(Blelefeld. Mu 1998 yafuna PhD eya waggulu eya D.litt okuva mu Kinyatta University).1971 – 1975 yasomesa mu UgandaTechnical College, Kyambogo. Yawandiika ekitabo Enkuluze y’Oluganda ey’e Makerer nga n’omu ku bayambi be mu kuwandiika ekitabo kino naye muzzukulu wa Lwomwa, Nkonge Douglas Kiyinikibi akuwandiikira bino.

Yayamba mu kuwandiika enkuluze mu nnimi endala nga Olucooli, Olusoga, Runyoro utooro ne Runyankole – Rukiga ng’ali mu Makerere University nga omugunjuzi.Yasomesa mu zimu ku Yunivatite ze Kenya enkulu nga Nairobi, Kenyatta ne Moi University. Alafubana okutuusa oluganda ku ddaala eryasanguza sayansi era emirimu gye egy’ebyewuunyo gisangibwa ku www.luganda.com

Muzzukulu wa Lwomwa ono yatamiira by’amagezi na lulimi lwe. Ate mu Uganda wano bwe wabaawo amuwa omukono mu buyigirize, tetunnamulaba. Musajja mufumbo era alina abaana babiri Banadda Kiyingi, asogola omwonge mu Nile Breweries ne Naluggya

Omuliga Dr. Kikuttoobudde Ssekkadde Kiyingi:
Yazaalibwa 8-08-1951, mutabani wa Paulo Kikwanguyira Kiyingi Banadda ava mu lunyiriri lwa Nansambu. Yasomera Kings College Buddo era yasoma PhD mu kutabula eddagala okuva mu Universisty ye Sidney, mu 1985. Yaliko ssentebe wa (PAA) Pan African Association 1989 / 1990. Fellow wa Royal Australian College of General Practitioners (FRACGP). Anoonyerezza nnyo ku bulwadde bwa asima n’enzijanjaba yaabwo. Mu 1975 yayambako MB Nsimbi nga yejjukanya ekitabo kye ‘Amannya Amaganda n’ennono zaago’. Mu 2002 yawandiika ekitabo ‘Olulyo lwa Kiyingi omuzira Ataayatuukirira’. Muzzukulu wa Lwomwa ono omukugu ayagala nnyo ebyobuwangwa bw’eggwanga lye Buganda, anyumirwa nnyo naddala ennyimba ennansi, ebivuga n’ennyambala eyaffe ey’edda, ekintu ekitali kyangu kusanga ku bantu bayivu nga ye,. Musajja mufumbo era alina abaana 4: Kulumba Kivebulaaya (Munnamateeka mu Australia, Nabbosa Makula (Omusawo omutendeke), Sam Lutalo ne mwannyina omulala.

Omuliga Dr. Samuel Kigwira Kiyingi Lutalo: Yazaalibwa 03-0901946 yasomera Kings’ College Buddo. Yafuna diguli y’obusawo (MBChB) okuva mu Makerere University mu 1973. Mu 1978, yafuna diguli ey’okubiri (Master of Medicine). Yakolera mu Royal London Hospital mu 1982. Yaliko omukulu wa Gweru Hospital, Zimbabwe. Yasomesaako mu University of Zimbabwe Medical School. Musajja ayagala ennyo ekika kye era mufumbo alina abaana abawala bana.

Omuliga omugenzi Ssalongo Kati Sserunkuuma, e Kitavujja Mbaale Mawokota , mu ddaame lye, yaleka awadde Ekika kye Ndiga yika ze ttaka biri(2) ku butaka e Mbaale. Weebale nnyo taata ettaka batono abaligaba, ekiraga nti wayagala nnyo ekika kyo.

Omuliga Omugenzi Yosefu Sserunkuuma Nkalubo owe Kamuli: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omuliga Omugenzi Erenesiti Kibuuka owe Kabowa: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omuliga Omugenzi Yosefu Sserunkuuma Nkalubo owe Kamuli: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omuliga Omugenzi Erenesiti Kibuuka owe Kabowa: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omuliga Omugenzi Kyobe Tito Ziritwawula owe Wampeewo: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omuliga Omugenzi Nalunkuuma Kyagulanyi: Maama w’omuyimbi omututumufu Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine. Omuliga Betty Nakibuuka: muyimbi wa nnyimba za ddiini ya christo omututumufu. Alina ennyimba nga; Munene munene, Tukutendereze Yesu, n’endala nnyingi era ye nnyina w’omuyimbi omuto Baby Gloria.

Omuliga Dr. Kiguli: Akulira Uganda Radiologist Association mu Yuganda.

Omuliga Gorreti Naluggya: Muyimbi, oluusi yeeyita Looya w’abakyala. Omukyala ono mulema, kyokka mukakaalukanyi nnyo.

Omuliga Nalunkuuma Nsereko: mukyala wa munnamawulire era munnakatemba omututufu owa musajja wa kabaka Nsereko akolera ku CBS.

Omuliga Kelvin Kizito Kiyingi: Omumyuka w’omwogezi wa Bbanka ya Yuganda
Omuliga Lutalo Mohammad:yawangula omudaali gwa bronzi mu mizannyo gya Olympics egyali mu Bungereza mu Augusito, 2012.
Omuliga Sam Lutalo: Ye yasooka okufuna diguli ya PhD ey’abantu abatayogera era nga tebawulira. Yaiggya mu Univasite ye Lancaster.
Omuliga Esita Muleme Nabbosa. Mukyala munnabyanjigiriza nnyo. Yasomera Gayaaza n’asomesa e Kampala Mukadde okumala ebbanga. Alina essomero ly’abaana erya Joy Infant School e Mganjo. Obusomesa agenda kubuwezaamu emya ataano nga tutuuse mu 2014.
Omuliga Joseph Bbosa: Munnabyabufuzi omugundiivu era nga ye ssaabawandiisi wa UPC, ekibiina ekikyasinze okukyayibwa wano mu Buganda olw’ebisaga bye kyatuusa ku Buganda mu bukulembeze bwa kawenkene erinnya lye nga saagala kuliwandiika mu kitabo kino.
Omuliga Samuel Kaggulire e Namasinda. Yali musajja mufunyi ddala, ayagala ennyo eggwanga lye era nga ye yali akulembera omutuba gwa Mpiima gwe nnasikira.Omukulu ono ne kitange be baana ba jjajjange Danieri Kiguli Kijojje agalamidde e Kyabbumba mu Busiro. Ye nno engeri gy’ataazaala mwana mulenzi, nze akuwandiikira nnalina okusikira omutuba, anti emirimu gino gye tukola gya nsikirano.

ABALIGA ABATALI BA LEERO

Omuliga Omutaka Buvi: Omuliga Buvi awamu ne Kituuma ne Nnakatandagira, bajjukirwa nnyo olw’okukaayanira obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebintu bya Kibuuka. Kigambibwa nti Kalyesubula bwe yali ali mu kkomera Mwendansiko, abataka abo bonsatule baakaayanira omulimu ogw’okukuuma ebintu bya Kibuuka Kyobe okutuusa Kabaka lwe yandibitumizza. Omusajja Munyweze eyali akuuma Kalyesubula bwe yamunyumiza ku mpaka ezo, Kalyesubula yagamba nti ssinga teyali musibe empaka yandizisaze ng’ababuulira omuntu eyali omutuufu okukuuma ebintu bya Kyobe Kibuuka. Abataka bwe baatuula okulonda anaabikuuma, Munyweze kwe kutegeeza Buvi ebigambo bya Kalyesubula era tebaalwa ne bamuyita.Kalyesubula bwe yajja nagamba nti Omutaka Buvi, Ssekabaka Nakibinge gwe yalonda okukuuma omuzira Kibuuka ng’avudde e Ssese, era y’alina n’okukuuma ebintu bye, kubanga kabaka gw’alibuuza ebintu bya Kibuuka.
Ensala ya Kalyesubula eyo, abataka bonna baagikkiriza ne bagisiima. Omutaka Buvi n’okuuma ebintu by’omuzira Kibuuka era n’okutuusa kati yalabirira ebiri mu Kkanisa ye Mbaale n’ekiggwa kya Nagalemedde muk’omuzira Kibuuka. Buvi ye yawandiikira Ssekabaka Mulondo ng’amusaba okuta kalyesubula era bwe baamuta n’amwa enviiri oluvannyuma omwava erinnya lye Lwomwa nga bwe twalaba emabegako.

Omuzira Mpungu: Owessiga e Bweya eyalya Obutambala. Mpungu mutabani wa Nakabaale Mikisesangwa e Mmembe, Mawokota muzzukulu wa Mbaale e yali omugabe wa Ssekabaka Kateregga mu kugaziya obuganda mu bugwanjuba. Newankubadde nga Abanyoro baali balwanyi nnyo mu biseera ebyo, Mpungu teyatya kubanganga. Olutalo yadde lwatwala akaseera, yalwa ddaaki nabasiguukulula nabasindiikiriza ewalako mu bugwanjuba era mu kumwebaza, Ssekabaka Kateregga yamuwa ekitundu kye yawangula ng’akifugira mu linnya Katambala.

Omuliga Kibeevu: Ye yalya Bulandoganyi, n’agoba Nnamuyonjo.Owesiga Kibeevu e Ssi-Bukunja, Kyaggwe mutabani wa Ssentumbwe owomuuba e Mpanga-Nnakabiso, Mawokota muzzukulu wa Ndalu owessiga muzzukulu wa Mbaale. Kibeevu yali muzira nnnyo mu ntalo era e Kyaggwe yagendayo ne Ssekabaka Mawanda (eyafuna erya mawanda olwa nnyina okuwandanga ng’ali lubuto lwe) ngalwana ne Nnamuyanja eyali mu Bukunja. Mawanda bwe yamala okuwangula n’agoba Nnamuyonjo mu Bukunja, naasimbira Kibeevu omutuba ku luzozi Ssi.

Olwo nno si kwe kufuuka obutaka bw’Abaliga obukulu mu Bukunja, Kyaggwe era bwe Butaka Kibeevu owessiga gy’atuula. Wempandikira bino nga mpulira akasambulabbwa akokujweteka ba ssaabanyala n’okuziyiza Kabaka okulambula abavubuka mu kyaggwe nga 12-09-09. Abaliga n’Abaganda mwenna mujjukire nti ensi yaffe Buganda yagula musaayi. Mutusanyusa nnyo buli lwe musimbira ekkuuli ebintu ebifutyanka kabaka n’eggwange lyammwe Buganda okutwalira awamu.

Omuliga Luzige: Ono yawangula Buddu, Abaliga ne tulya obwa Ppookino.Obwa Ppookino nnazzikuno nga bwa Baliga kubanga Buddu yawangulibwa omuliga Luzige omugabe wa Ssekabaka Jjunju. Luzige Ppookino eyasooka ava mu Ssiga lya Ssekasamba mu mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro.

Ow’Endiga Yiga ye yadda ku bwa Ppokino ku Ssekabaka Jjunju, ava mu ssiga lya Ssekasamba mu Mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro.

Omuliga Yiga: Naye yalya obwa Ppookino ku Ssekabaka Jjunju. Luwalira yabulya nga Ssemakookiro yali ku Namulondo.

Omuliga Luwalira: Ono yalya obwa Ppookino ku Ssekabaka Ssemakookiro, ava mu ssiga lya Ssekasamba mu mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro. Bannabuddu baamuggyako n’enjogera egamba nti “okyemanyi, Omunyoro mwa Luwalira”. Ekyo kyava mu kubaagala nnyo.

Omuliga Nkonge Namujulirwa: Ono obwa Pookino yabulya ku Ssekabada Ssuuna II ne ku Ssekabaka Muteesa I, ava mu ssiga lya Ssekasamba mu mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro. Muteesa yamwagala nnyo era olw’okumujulizanga ku nsonga ezitali zimu abantu baamukazaako erya Namujulirwa kyokka nga ye yali ow’erinnya Nkonge.

Ezziga ly’omusajja liva wala naye kigambibwa nti lumu Namujulirwa yakaabira emmere abantu abaali basindikiddwa kabaka bwe baatema ennyo amatooke ge. Namujjulirwa teyalwa n’asituka n’abalwanyisa, ng’atya nti bayinza okumala emmere mu nsuku n’abulwa gy’awa Kabaka. Ebyo abadongo n’abalanga olwabagwa mu matu ne boogeza enkoba nti: Abadongo nno kye babeeredde, olwabiwulira nga boogeza nkoba nti: “Namujjulirwa Omuliga Yakaabira emmere, Yandiridde ku nte ze, Natakaabira mmere”.

Omuliga Oweek. Henry Nnyonyintono: Ono yalya obwa katikkiro.Oweekitiibwa ono ava mu ssiga lya Nakabaale e Mmembe Mawokota, mu mutuba gwa Ssekkadde Ssejjemba e Lugogo, Mawokota yalya obwa Katikkiro ku Ssekabaka Mwanga II, ye yakulembera Abasomi Abakurisitaayo okubatuusa e Kabula gye baddukira mu ntalo z’eddiini.
Nnyonyintono yali muzira nnamige wabula ebyembi nga bwe bagamba nti “Abazira bafiira mu ntalo” ne Nnyonyintono, bambi olwe Mawuki teyalwabula bwe baamuttira e Mawuki mu Ggomba mu 1889. Kigambibwa nti ekyamuttisa kulwanira ku mbalaasi waggulu ng’abalabe bamulengera.

Omuliga Aloni Kiguli: Ye yatandika emipiira gy’ebika. Omuliga Aloni Kiguli Mikiseesangwa eyali owomutuba gwa Ssekkadde Ssejjemba e Lugogo, Mawokota mu ssiga lya Nakabaale e Mmembe, Mawokota mutabani w’omugenzi Samwiri Katazza Balagadde e Nabutiti Bukuya, Ssingo ye yaleeta ekirowoozo ky’okussaawo empaka z’omupiira gwe bika byo mu Buganda, mwe bivuganyiza nga bwe byavuganyanga edda mu mirimu n’emizannyo egy’obuwangwa nga bwe kyandibadde ekirungi okutandikawo empaka z’omupiira.

Ebbaluwa Ssekabaka Muteesa II yagifuna bulungi era n’amuddamu nti alibikolako ng’akomyewo e Buganda anti mu kiseera ekyo yali akyasoma e Bungereza.Ssekabaka Muteesa II bwe yakomawo, yayita Kiguli amunyonnole bulungi ensonga ze ezaali mu bbaluwa era okukkakkana nga kabaka abakkiriza.

Lwomwa Rev. Canon Kezekiya Kaggwa Ssekubunga
Oyo tumumanyiiko bingi kubanga si wadda ate n’abantu be abamu bakyaliwo. Omugenzi Lwomwa Canon Kezekiya Kaggwa (ne lya Kalyabagatte limusaanira) yaweereza nnyo ensi ye ng’ayita mu ddiini ne mu kika kye era n’engeri endala.

Lwomwa Canon Kaggwa Yazalibwa Isaya Mbasaakaaze Kalibwami. Nnyina yayitibwanga Saala Kitta.Yazaalibwa Rev. Tomasi Ssenfuma.Lwomwa Canon Kaggwa yatonnya ku nsi mu mwaka 1877, n’afa nga 17 September, 1967.Yaziikibwa ku Kkanisa Luttiko e Namirembe.

Lwomwa Sekubunga, Obwawule bw’ekkanisa yabufuna mumwaka 1911, obwalwomwa n’abulya mu 1937. Emirimu gyombi emizibu yagigatika n’agikola okutuusa lwe yafa.Canon Lwomwa Kaggwa yayagala abantu ba buli ngeri.Teyasosolanga mu bantu olw’eddiini zaabwe oba amadaala gaabwe oba amawanga gaabwe, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, bonna yabayisanga ng’abantu.

Omuliga Lutalo e Buyija. Yali ayitibwa Ssembabulidde. bwe yalaga obuzira mu ntalo za Ssekabaka Nakibinge n’alondebwa okutuusanga ku kabaka ebifa ku lutalo buli kiseera. Kye yava ayitibwa Lutalo.

Omutaka Mpungu e Bweya. Oyo mutabani wa Nakabaale e Mmembe .Ssekabaka Kateregga gwe yagaba okugaziya Obuganda mu Bugwanjuba.Mu biro ebyo Abanyoro baali ba maanyi nnyo naye Mpungu teyatya kubatambaala. Newankubadde nga yalwawo okubasiguukulula naye ekyo yakikola, n’abongerayo mu Bugwanjuba. Kabaka okumwebaza, kwe kumuwa okufuga ekitundu kye yawangula, ng’akifugira mu linnya KATAMBALA.

Omuliga Ssemukulungwa: Ono ye yasikira Luwalira, obwa Ppookino yabulya ku Ssekabaka Suuna II.
Omulongo Dawudi Wasswa: Ono ava mu ssiga lya Mpungu eyalya obwalwomwa mu ntalo z’eddini, naye yalwana nnyo mu ntalo z’eddiini.Balwanyi banne baamutuuma kafulu olw’okumanya ennyo okukuba emundu.
Omuliga Omutuukirivu Bruno Serunkuuma: Yazalibwa Ppookino Namujulirwa. Yali omu ku bazira abaagumira okufa olw’eddiini.Omuntu aguma n’attibwa olw’ekintu ky’aba akkiriza aba muzira.

Omuliga Omutuukirivu Mukasa Kiriwawanvu: Mwana wa Lumanyika Kirwamukyayi.Yasalawo okufa ku lw’eddiini empya.Omuntu aguma n’attibwa olw’ekintu ky’aba akkiriza aba muzira.Era ono aba wa Ndiga.
Abaliga bajjukirwa nnyo ng’abaali abazira ennyo mu ntalo era mpozzi kyandiba ng’obuzira buno baabugya ku Kibuuka Omumbaale gwe baggya e Ssese ate oluvannyuma n’afuuka nga ow’ekika.

Omuliga Dokita Donoziyo Bbosa Baamundaga Kaddu: Ono yali musawo wa kizungu omutendeke obulungi era eyayagala ennyo omulimu gwe ogw’obusawo wamu n’eggwanga lye Buganda okutwalira awamu.
Dr M.B. Nsimbi bw’aba anyumya ku muliga ono, agamba nti Kitaawe ye nguli Petero Kaddu Byakusaaga ava mu mutuba gwa Kinaagomba, mu ssigga lya Ssemiti e Buyanga, mu mawokota. Kitaawe yali muweereza mu kereziya y’e Katende, ng’akola mulimu gwa busaakirisitiya. Petero yafa mangu, n’aleka Baamundaga nga bbujje. Nga bwetugamba nti “Nkoba zambogo, zeggya zokka mu bunnya”, ne Baamundaga yeesitula yekka okuva wansi kitaawe we yamuleka. Yava buto nga mujagujagu.Yasuubula ku mbugo n’azitundanga mu katale e Mpigi. Nnyina Cecilia Namwanje Sibaaliramu yamuyigiriza okulima n’akuyiga.

Baamundaga ne nnyina baasengukira ku kyalo Muzinda, mu Busiro, Baamundaga n’ayiga emizannyo gyonna egy’Ekiganda n’egy’Ekizungu.Mu kigwo yali tawunyikamu. Mu kwesa yali mmo, anti nga banne abagobya nkaaga.Yagenda n’ayiga okukuba akadingidi n’okuyimba n’asinga n’abakulu. Yakubiranga nnyo mu maduuka e Buloba, abaamulabanga ne beewunya okulaba ebbujje erikuba endingidi neyimiriza n’abatambuze. Abantu baalowooza nti omulenzi oyo bw’alikula aliba mutongooli kkungwa sso nga liiso ddene (alaba wansi ne waggulu) yali amuterekedde omulimu mulala nnyo Oluganda lulimu engero nnyingi eziyigiriza ebintu ebya buli ngeri. Olumu ku zzo lwe luno, “Omukisa nkukunyi, tegutuulirwa”. Ogwa Baamundaga gwaggyira mu kadingidi, ggwe anti wuliriza.

Lumu yebba ku nnyina n’akwata akadingidi ate nga naye bw’ayogera byonna bye yagala okwogera. Akadingidi kaagumbya n’abatambuze, abasajja n’abakazi, abakulu n’abato, nga beerolera ebbujja erikuba akadingidi okuzaama.

Mu baagumba nga banyumirwa akadingidi ka Baamundaga mwe mwali omusosodooti eyamanya nga Baamundaga mulekwa n’ayagala amutwale kussomero, ku kadingidi ayongereko amagezi amalala.omuzirakisa oyo ebigambo bwe yabyanjulira sibaaliramu kata afe essanyu. Ennaku zaayitawo mbale baamundaga n’atuuka mu ssomero e Lubaga, wuuyo st Mary’s Kisubi.Okulinnya akasozi Makeerere teyakusangamu buzibu, n’atandika omusomo gw’obusawo ogwalema banne abamu beyasoma nabo. Ogwo yagukuba mangu olukumutwe mu mwaka 1927. Yawandisiiwa ng’omusawo mu 1930. Mu masomero gonna, yali kafulu mu mizannyo egyalimu. Mu Makerere yali kapiteeni wa ttiimu y’omupiira. Obusawo yabutandiki mu 1927. Yali omu ku basawo abasatu Bannayuganda abasooka mu Uganda; (Baziwaane), (Bamugye) naye. Yakolera mu bibuga bya Uganda bingi.

Yali omu ku basawo abaalwanyisa ennyo endwadde ya kawumpuli eyali eyagala okumalawo Bannayuganda.

Mu 1936, Baamudanga yali mu kibuga Butyaba mu Bunyoro. Eyo gye yazzizza gwe baali bayita omusango ogwalema okuwaaba. Yagenda n’alongoosa omuzungu eyali agudde ku kabenje mu nnyonyi, n’amuwonya. Abazungu abamu abaalimu katwewungu bwe baakiwulira ne bagamba nti yakola kivve, asaana kutwala luzira asibibwe. Ani yamuwa obuyinza okulongoosa omuzungu? Bagamba nti “akusinga akukubya gw’okutte”, Baamundaga yatwalibwa e Luzira n’asibibwa ngalinda okuwoza ogw’okulongoosa omuzungu, naye byali bya mpuna, ( ng’omubbi bamubbye). Anti baali bamutwala mu kkooti okumuwozesa, ebbaluwa n’emidaali n’ebirabo ebyava ewa Ssekabaka George VI okumwebaza olw’okuwonya obulamu bw’omuzungu ne bituuka. Awo omusango wegwakoma; ezaali ennaku za baandaga ne zifuukirayo essanyu lye. Namugereka bwatyo bw’akola, kyeva agya amayembe ga segwanga ku mutwe n’agazza ku magulu!

Baamundaga yayagalanga nnyo eggwanga lye n’ebyobuwangwa ne Baganda banne. Baamundaga yakola ekyewuunyisa kubanga Ssekabaka Muteesa ekigere kye ekisajja kyali kiremye mu malwaliro mangi naye ne bamamuzigirira Baamundaga n’akijjanjaba n’akiwonya mu 1958. Muteesa bwe yasanyuka ennyo n’amuwa n’okukulira amalwaliro gonna aga Buganda.

Baamundaga, amagezi ge gonna n’amaanyi ge yabiwaayo okujjanjaba abalwadde.
Teyayimbagatanya mirimu ng’abasawo abamu bwe bakola. Abaana be bonna yabaagalanga nnyo, kye yava abatwala mu masomero bonna ne basoma. Dokita Baamudanga Yafa Nga July 4 1978, n’aziikibwa Nga July 6 1978.

Omuliga Rev. Dokita George William Kiyingi Kabaale Baamudanga: Omukulu wa Seminaliyo y’e Jinja ate nga ye mumyuka wa Bishop waayo, Dokita Mathias Wasswa,

Omuliga John Mpanga (B.Com, M.Com.MBA). Mutabani wa Dokita Baamundaga eyasoma obulungi ebyenfuna. Omuliga Twase: Ebyafaayo bya Twase yabikolera mu kucanga mupiira. Y’omu ku basambi b’omupiira abaatikirivu abaabaddewo mu Yuganda. Yagusamba ku Michwa II ne ku Miteesa II, abantu ne bagambanga nti “Ekyo kirungi ng’omupiira gwa Twase”.

Ekiseera Twase kye yasambiramu ennyo omupiira, empaka z’okugatta Uganda ne Kenya we zaakalambirira, nga Uganda erumizza engabo amannyo.ekyo tekyagaana Uganda kwabalagana na Kenya mu mpaka z’omupiira.omupiira gwanyumira nnyo abalabi kubanga Twase yagucanga n’adda ne mu kati, Uganda n’ewangula. Abayimbi oluusi baba ng’abalaguzi kubanga bayimba nti “Omupiira gwali gwa kugatta nsi naye Twase yasamba gwa kugattulula”. Okuva olwo eby’okugatta Kenya ne Uganda tebyaddayo kuwulirwa.

Omuliga Bakongola: Ye bwe yakubanga engalabi ku Muteesa II ng’omuntu ayinza okutya ng’alowooza nti anaagyasa ate nga mu kunyuma eri wala.
Omuliga Fr. Bbaaziriyo Lumu: Omu ku baana abasatu enzaalwa ye buddu abaali abasaale okwesogga n’okusaasaanya eddiini y’Obukristu. Kati emyaka giweze kikumi be ddu wempaaniikira bino mu Gatonnya 2013.

Abendiga ab’ebyafaayo bakyaliwo era tetujja kusobola kubawandiika bonna mu kitabo kino.Katulowooze ku kuwandiikayo ekitabo nga kiraga Baliga ba byafaayomu bujjuvu.
Omuliga Dr. Fredrick Nkonge: Musawo musawo omutendekeke ennyo era atendeka n’abasawo abalala. Waliwo Omulamuzi omukulu Solome Bbosa n’Omulamuzi omukulu Nkonge, sibamanyi nnyo naye bateekwa okuba n’akakwate ku Ndiga.