Uncategorised
Hits: 1376
Bannabyafaayo bangi bazze bawandiika ku ntandikwa bujjajja bw’Abaliga naye nga batandikira ku Mbaale, kino kireetedde bangi okwebuuza nti ye Mbaale ava wa? Bw’ogoba obuufu Muzzukulu wa Nnambi Bro. Tarcis Nsobya (Munnakalooli) (2000), tolema kufuna kuddibwamu. Kubanga agamba nti endowoza nti Ssekabaka Kato Kintu ye kabaka wa Buganda omuberyeberye ku ye ssi ntuufu, wabula oluse oluberyebyerye lwe lwo olwa Ssekabaka Ttonda eyalamula ensi eno okuva nga mu mwaka ogwe 400 okutuusa nga mu gwe 420. Oluse lwa Ssekabaka Ttonda lwalimu bakabaka 36 era lwakoma ku Kabaka Bbemba Musota eyalamula eggwanga lino okuva nga mu mwaka ogwo 1180 okutuusa nga mu 1200.