Oluyimba Lw'ekika

Ennono Y’obwajjajja Mu Ndiga 

 

ENNONO Y’OBWAJJAJJA MU NDIGA JJAJJAFFE YE MBAALE SSO SI SSEKKOBA ABAANA BA JJAJJAFFE MBAALE OMUTI OGULAGA OBWAJJAJJA OKUVA MU MBAALE MBAALE OKUSIKIRA OBWALWOMWA  EBIRALA KU JJAJJAFFE MBAALE

 

 Lwali lumu jjajjaffe Mbaale bwe yali nga avuba ensonzi mu Kkoba ne basisinkana ne Ndugwa ow’Olugave, emboozi bwe yagwa amakerenda, Ndugwa n’abuuza Mbaale nti olinayo omwana eka? Ko Mbaale nti bwondeka musajja wattu, omwana nga muggya wa? Ndugwa yamuddamu nti kankulagirire omusawo agaba oluzaalo. Ko munne nti nze amatu nteze. Ko Ndugwa nti omusawo ali Ssese, erinnya lye ye Wannema Mukasa. Nga alimu empewo bwe batamulaga muliro, waayitawo ennaku ntono, Mbaale n’alamaga olwe Ssese okunoonya ezzadde.Wannema Mukasa yasangibwayo bulungi era teyakalubiiriza Mbaale ng’amuwa ddagala lya luzaalo. Mu kumuwa eddagala yamugamba nti genda osimbe eddagala lyenkuwadde eriyitibwa Kalyesubula kyokka omwana gw’olisooka okuzaala ogenda kumumpa abeere ndobolo yange, nange manye nti nze nakuwa oluzaalo. Mbaale yagamba nti ayogedde gw’oludde. Eddagala teyalirwiisa n’alisiimba mu luggya lwe ne limera.lyali kye lijje limere, jjajjaffe omukyala n’afuna omwana mu lubuto. Okuzaala bwe kwatuuka yakubawo ddenzi.Mbaale mu ssanyu eringi omwana n’amutuuma Ssekkoba okkujjukira omugga Kkoba ogw’omukisa, Ndugwa mwe yamuweera amagezi agamufunyisa omwana.Ku Ssekkoba, jjajjaffe kwe yazza abaana bano: Ssekizimu Ndalu, Nnambi Nabbosa, Buvi Bbosa. Awo nno nga Endiga ng’egaziwa! 

 

EDDAAME LYA JJAJJAFFE MBAALE

 Jjajjaffe Mbaale bwe yali anaatera okufa n’ayita abaana be n’abategeeza nti mukulu waabwe Ssekkoba yali tayinza kumusikira kubanga yali musiige wa Wannema Mukasa e Ssese ng’alinayo obuvunaanyizibwa bunene. Bwe yamala okwogera ebyo, n’agamba Ssekizimu Ndalu nti naawe saagala onsikire kubanga wakola ekivve n’osobya ku mwannyoko Nnambi Nnabbosa. Kye nnava nkugoba nawano, mu kika sikugobyemu naye toyinza kunsikira olw’ekivve ekyo kyewakola. Muto wammwe Buvi Bbosa y’ajja okunsikira. Mbaale nate yagamba abaana nti baana bange njagala mukakase ekika era omuziro gwamwe. Baana bange temulyanga ndiga, Endiga gwe muziro gwange era gwe muziro gwamwe okuva leero n’ekiseera kyonna. Newankubadde nga mbadde ngirunda naye mbadde sigirunda lwakugirya wazira mbadde ngirunda lwakugyagala. Nammwe bwe MBAALE ANYWA 

OLUZAALO, ENDIGA EGAZIWA - munaabanga mwagala munaabeeranga n’endiga mu maka gammwe naye nga temuzikola kabi konna. Alirya endiga nga si mwana wange era nga si muzzukulu wange.Okuva olwo n’okutuusa kati, abaana n’abazzukulu ba Mbaale tebalya Ndiga. Oluvannyuma Mbaale teyadda ku bino nti Kye weetema olwadde, bw’owona tokiwa, yatuukiriza obweyamo bwe yawa Wannema Mukasa. Yasitula omwana we Ssekkoba n’amutwalira Wannema Mukasa okuba endobolo ye nga bwe yasuubiza ng’aggyayo oluzaalo. Eddagala ly’oluzaalo Mbaale lye yasimba mu luggya lwe lyamera ne livaamu omuvule omunene oguyitibwa Kalyesubula. Omuvule Kalyesubula guli kumpi nnyo n’essomero eriyitibwa Kibuuka Memorial School e Mpigi mu Mawokota, eryazimbibwa mumwaka 1910. Kigambibwa nti Abedda nga n’essomero telinnabaawo baatwalanga embuzi ne bazisiba ku muvule Kalyesubula nga mulimu n’abo abagenda okusaba oluzaalo. Oboolyawo ng’omuvule ogwasookawo si gwegwo oguliwo kaakano, anti emiti egimu gisuula ensigo ne zimera nga gyo givuddewo. 

 

EKIGGYA KYA MBAALE WAKATI MU BUSOZI EKKUMI 

Jjajjaffe Omutaka Mbaale bwe yafa yaziikibwa ku Katunnumba k’olusozi Lwasi okuliraana ekkanisa ye Mbaale. Ekiggya kya Mbaale kikuumibwa bulungi era kiriko amayinja agatakikkiriza kubula. Ku butaka bwaffe Abaliga e Mbaale, Mawokota kwe kuli n’omukyala w’omuzira Kyobe Kibuuka ow’ensikirano Nagalemedde, muwala w’omutaka Mbajja Omukerekere e Namayumba, Bulemeezi. Ensozi ekkumi ezetoolodde awo awaazikibwa Mbaale bwe butaka bw’Aliga obukulu.Ekitundu mweziri kye kiyitibwa Mbaale. Ensozi ze zino: 1. Olusozi Kkulumba 2. Olusozi Lwasi 3. Olusozi Bunnamweri 4. Olusozi Kitavujja 5. Olusozi Mpami 6. Olusozi Mmembe 7. Olusozi Sseenene 8. Olusozi Maziba 9. Olusozi Mpanga, Nakabiso 10. Olusozi Buyanga Mu butaka bw’Abendiga obwo temuli lusozi luyitibwa Mbaale, Jjajjaffe gwe tuvaamu y’ayitibwa Mbaale.Erinya lye lye lyabuna ensozi ezo ne Ggombolola yonna eya Mutuba I e Mpigi Mawokota. Waliwo n’ensozi ezirimu obutaka bw’Abendiga omutuula abataka nga bwe tunaal