JJAJJA MBAALE YANDIBA NGA YAVA MU SSEKABAKA TTONDA
Bannabyafaayo bangi bazze bawandiika ku ntandikwa bujjajja bw’Abaliga naye nga batandikira ku Mbaale, kino kireetedde bangi okwebuuza nti ye Mbaale ava wa? Bw’ogoba obuufu Muzzukulu wa Nnambi Bro. Tarcis Nsobya (Munnakalooli) (2000), tolema kufuna kuddibwamu. Kubanga agamba nti endowoza nti Ssekabaka Kato Kintu ye kabaka wa Buganda omuberyeberye ku ye ssi ntuufu, wabula oluse oluberyebyerye lwe lwo olwa Ssekabaka Ttonda eyalamula ensi eno okuva nga mu mwaka ogwe 400 okutuusa nga mu gwe 420. Oluse lwa Ssekabaka Ttonda lwalimu bakabaka 36 era lwakoma ku Kabaka Bbemba Musota eyalamula eggwanga lino okuva nga mu mwaka ogwo 1180 okutuusa nga mu 1200. Nsobya agamba nti Ttonda yatumibwa Lubaale Katonda okutondawo emirembe mu nsi Muwawa. Olubiri lwe lwali Busomba e Mbaale, Mawokota era nga yaziikibwa Ttonda mu Mawokota. Ttonda yasikirwa mutabani we Kabaka Ggulu eyalamula okuva mu gwe 420 okutuusa nga mu gwe 442. Erinnya Ggulu lyamutuumibwa okujjukira Lubaale Katonda eyasulanga mu Ggulu (mu lubaale). Ggulu yazaala abaana 22 nga mwe mwali Mbaale, oluvannyuma eyafuuka Kabaka ne Kagulu n’amusikira. Kabaka Mbaale yasima oluzzi lwe ku kasozi Sseenene n’alutuuma Kaduumya (linnya lya Ndiga nnyo) nga terusenwamu Munyoro. Kirowoozebwa nti nga mu mirembe gya Ssekabaka Nakibinge VIII mu luse lwa Kintu (1440-1490), oluzzi olwo lwali lukyaliwo kubanga mu kiseera ekyo Omunyoro n’Omuganda baali kabwa na ngo. Amasiro ge gaali Sseenene era nga agakuuma ye Kiguli ow’Endiga(Kiguli e Sseenene ye mukulu w’essiga lya Kiguli). Kigambibwa nti Ssekabaka Kagulu (442-463) ye yasikira kitaawe Ggulu era omulongo we ye Kayuki (linnya lya w’Akayozi). Kagulu yazaala abaana be kkumi na bataano (15)
Akuuma omulongo (Olulira lwa Kabaka) wa Kagulu ye Nasera ow’e Busera, wa Ndiga era ali Mbaale. Olubiri teyalukyusa, yaluleka Sseenene era yeeri n’amasiro ge
Kigambibwa nti waaliwo ku Ssekabaka Mbaale mutabani wa Ggulu era muto wa Kagulu eyafuga ensi muwawa okuva mu mwaka ogwe 468 okutuuka nga mu gwe 483. Mbaale yakuba olubiri lwe ku lusozi Kkulumba (linnya lya Ndiga), awo e Mbaale era awali ekiggwa n’ekiggya ky’ekika ky’Endiga. Omulongo wa Ssekabaka Mbaale ye Mpungu(ono naye mu Ndiga mutaka nnyo). Omukuumi w’omulongo ye Nnakatandagira ow’Endiga. Mbaale yawangaala nnyo nnyo n’obulamu ne bumutama. Amasiro ge gali ku lusozi Kkulumba. Ebyafaayo bino ebiriraanya Ttonda ku Mbaale ate ne ku bakabaka okutwalira awamu kizibu okugamba nti byasibagana busibaganyi. Noolwekyo Mbaale ono eyali kabaka y’alabika okuba Mbaale jjajja w’Abaliga.Kati tugambe tutya nti tuli Balangira na Bambejja? Nedda, Leka ensonga tugitereeze tutu:
Kinonoozebwa nti Ssekabaka Kato Kintu (1200-1230) ow’oluse lwa bakabaka olw’okubiri ebika bye yasangawo (omwali n’endiga) byali biteekeddwateekeddwa bulungi era nga byetwala nga obwakabaka obwetongodde okuva ku nju okutuuka ku kasolya
Ssekabaka Kintu olwokulengerera ewala ky’ava asalawo n’agatta ebika okuzimba ensi Buganda (ekiva mu muganda, ebintu ebisoobolokofu ebisibiddwa awamu) era kyova olaba nti OBUGANDA BIKA. Eyo ye nsonga lwaki bannabyafaayo basalawo okulondoola ensi Buganda n’ebika okuva ku Ssekabaka Kintu kubanga ensi Buganda eyeesigamiziddwa ku bika wetandikira. Ekiddako wansi kaakati kwe kutunuulira ebyafaayo bya Mbaale nga jjajja w’Abaliga mu nsi Buganda (eyeesigamye ku bika) okwawukanako n’ensi muwawa ey’omulembe gwa Ttonda (eteesigamye ku bika nga ebika ebimu munsi Muwawa nabyo nga byali byetwala bulungi nga obwakabaka obujjuvu, kye tuva tulaba nga ensengeka mu kika eringa bwakabaka obujjuvu nga tusangamu ne ba katikkiro)
ABALIGA TEBAVANGA BUMOGERA E MBAALE, BUGISU
Waliwo abagamba nti jjajja w’Abaliga ye Mutaka Ssekkoba eyava e Bumogera mu Kavirondo okuliraana Bukedi, nadda e Ssese ewa Wannema nga Kabaka Kayima (ow’e 17 mu Bassekabaka be Buganda) y’alamula. Yatuula ku mutala Busanga e Kkome ku nnyanja Nalubaale. Ku kizinga okwo kwe yazaalira mutabani we asooka Bbosa era n’amukuliza ku kizinga okwo. Waliwo abagamba nti jjajja w’Abaliga ye Mutaka Ssekkoba eyava e Bumogera mu Kavirondo okuliraana Bukedi, nadda e Ssese ewa Wannema nga Kabaka Kayima (ow’e 17 mu Bassekabaka be Buganda) y’alamula. Yatuula ku mutala Busanga e Kkome ku nnyanja Nalubaale. Ku kizinga okwo kwe yazaalira mutabani we asooka Bbosa era n’amukuliza ku kizinga okwo.
Bagamba nti ku Mutungo okwo kwe yazaalira omwana we Kalyesubula Kikonyogo. Kalyesubula bw’asikira kitaawe oluvannyuma, kwe kukulira ekika ky’Endiga kyonna, n’afuna n’erinnya Lwomwa. Okuva olwo erinnya eryo ne likala ku buli mukulu w’ekika ky’Endiga. Ensonga eyo yandibaamu omuzinzi kubanga mu kika ky’Endiga tusangamu essiga lya Wakikunga e Mutungo, Kyaddondo. Kalyesubula ye wuuyo owaffe gwe tumanyi era waliwo n’ensonga endala ezikwatagana mu bigambo ebyo, wewaawo gwaka nga musana kaakiro tabulamu. Tujja kutunuulira ku bigambo ebirala twongere okusengejjamu amazima.