Oluyimba Lw'ekika

OKUTANDIKA KW’EKIKA KY’ENDIGA

OKUTANDIKA KW’EKIKA KY’ENDIGA JJAJJA MBAALE YANDIBA NGA YAVA MU SSEKABAKA TTONDA

Bannabyafaayo bangi bazze bawandiika ku ntandikwa bujjajja bw’Abaliga naye nga batandikira ku Mbaale, kino kireetedde bangi okwebuuza nti ye Mbaale ava wa? Bw’ogoba obuufu Muzzukulu wa Nnambi Bro. Tarcis Nsobya (Munnakalooli) (2000), tolema kufuna kuddibwamu. Kubanga agamba nti endowoza nti Ssekabaka Kato Kintu ye kabaka wa Buganda omuberyeberye ku ye ssi ntuufu, wabula oluse oluberyebyerye lwe lwo olwa Ssekabaka Ttonda eyalamula ensi eno okuva nga mu mwaka ogwe 400 okutuusa nga mu gwe 420. Oluse lwa Ssekabaka Ttonda lwalimu bakabaka 36 era lwakoma ku Kabaka Bbemba Musota eyalamula eggwanga lino okuva nga mu mwaka ogwo 1180 okutuusa nga mu 1200. Nsobya agamba nti Ttonda yatumibwa Lubaale Katonda okutondawo emirembe mu nsi Muwawa. Olubiri lwe lwali Busomba e Mbaale, Mawokota era nga yaziikibwa Ttonda mu Mawokota. Ttonda yasikirwa mutabani we Kabaka Ggulu eyalamula okuva mu gwe 420 okutuusa nga mu gwe 442. Erinnya Ggulu lyamutuumibwa okujjukira Lubaale Katonda eyasulanga mu Ggulu (mu lubaale). Ggulu yazaala abaana 22 nga mwe mwali Mbaale, oluvannyuma eyafuuka Kabaka ne Kagulu n’amusikira. Kabaka Mbaale yasima oluzzi lwe ku kasozi Sseenene n’alutuuma Kaduumya (linnya lya Ndiga nnyo) nga terusenwamu Munyoro. Kirowoozebwa nti nga mu mirembe gya Ssekabaka Nakibinge VIII mu luse lwa Kintu (1440-1490), oluzzi olwo lwali lukyaliwo kubanga mu kiseera ekyo Omunyoro n’Omuganda baali kabwa na ngo. Amasiro ge gaali Sseenene era nga agakuuma ye Kiguli ow’Endiga(Kiguli e Sseenene ye mukulu w’essiga lya Kiguli). Kigambibwa nti Ssekabaka Kagulu (442-463) ye yasikira kitaawe Ggulu era omulongo we ye Kayuki (linnya lya w’Akayozi). Kagulu yazaala abaana be kkumi na bataano (15). Ssekabaka Kintu olwokulengerera ewala ky’ava asalawo n’agatta ebika okuzimba ensi Buganda (ekiva mu muganda, ebintu ebisoobolokofu ebisibiddwa awamu) era kyova olaba nti OBUGANDA BIKA. Eyo ye nsonga lwaki bannabyafaayo basalawo okulondoola ensi Buganda n’ebika okuva ku Ssekabaka Kintu kubanga ensi Buganda eyeesigamiziddwa ku bika wetandikira. Ekiddako wansi kaakati kwe kutunuulira ebyafaayo bya Mbaale nga jjajja w’Abaliga mu nsi Buganda (eyeesigamye ku bika) okwawukanako n’ensi muwawa ey’omulembe gwa Ttonda (eteesigamye ku bika nga ebika ebimu munsi Muwawa nabyo nga byali byetwala bulungi nga obwakabaka obujjuvu, kye tuva tulaba nga ensengeka mu kika eringa bwakabaka obujjuvu nga tusangamu ne ba katikkiro) Waliwo abagamba nti jjajja w’Abaliga ye Mutaka Ssekkoba eyava e Bumogera mu Kavirondo okuliraana Bukedi, nadda e Ssese ewa Wannema nga Kabaka Kayima (ow’e 17 mu Bassekabaka be Buganda) y’alamula. Yatuula ku mutala Busanga e Kkome ku nnyanja Nalubaale. Ku kizinga okwo kwe yazaalira mutabani we asooka Bbosa era n’amukuliza ku kizinga okwo. Waliwo abagamba nti jjajja w’Abaliga ye Mutaka Ssekkoba eyava e Bumogera mu Kavirondo okuliraana Bukedi, nadda e Ssese ewa Wannema nga Kabaka Kayima (ow’e 17 mu Bassekabaka be Buganda) y’alamula. Yatuula ku mutala Busanga e Kkome ku nnyanja Nalubaale. Ku kizinga okwo kwe yazaalira mutabani we asooka Bbosa era n’amukuliza ku kizinga okwo. ABALIGA TEBAVANGA BUMOGERA E MBAALE, BUGISU -  Obubakattima Ennono Ebifaananyi Obutambi Okwewandiisa Ebifa ku Ndiga Ekitiibwa Kya Buganda