Oluyimba Lw'ekika

ABALIGA ABATALI BA LEERO

Omuliga Omutaka Buvi: Omuliga Buvi awamu ne Kituuma ne Nnakatandagira, bajjukirwa nnyo olw’okukaayanira obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebintu bya Kibuuka. Kigambibwa nti Kalyesubula bwe yali ali mu kkomera Mwendansiko, abataka abo bonsatule baakaayanira omulimu ogw’okukuuma ebintu bya Kibuuka Kyobe okutuusa Kabaka lwe yandibitumizza. Omusajja Munyweze eyali akuuma Kalyesubula bwe yamunyumiza ku mpaka ezo, Kalyesubula yagamba nti ssinga teyali musibe empaka yandizisaze ng’ababuulira omuntu eyali omutuufu okukuuma ebintu bya Kyobe Kibuuka. Abataka bwe baatuula okulonda anaabikuuma, Munyweze kwe kutegeeza Buvi ebigambo bya Kalyesubula era tebaalwa ne bamuyita.Kalyesubula bwe yajja nagamba nti Omutaka Buvi, Ssekabaka Nakibinge gwe yalonda okukuuma omuzira Kibuuka ng’avudde e Ssese, era y’alina n’okukuuma ebintu bye, kubanga kabaka gw’alibuuza ebintu bya Kibuuka.
Ensala ya Kalyesubula eyo, abataka bonna baagikkiriza ne bagisiima. Omutaka Buvi n’okuuma ebintu by’omuzira Kibuuka era n’okutuusa kati yalabirira ebiri mu Kkanisa ye Mbaale n’ekiggwa kya Nagalemedde muk’omuzira Kibuuka. Buvi ye yawandiikira Ssekabaka Mulondo ng’amusaba okuta kalyesubula era bwe baamuta n’amwa enviiri oluvannyuma omwava erinnya lye Lwomwa nga bwe twalaba emabegako.

Omuzira Mpungu: Owessiga e Bweya eyalya Obutambala. Mpungu mutabani wa Nakabaale Mikisesangwa e Mmembe, Mawokota muzzukulu wa Mbaale e yali omugabe wa Ssekabaka Kateregga mu kugaziya obuganda mu bugwanjuba. Newankubadde nga Abanyoro baali balwanyi nnyo mu biseera ebyo, Mpungu teyatya kubanganga. Olutalo yadde lwatwala akaseera, yalwa ddaaki nabasiguukulula nabasindiikiriza ewalako mu bugwanjuba era mu kumwebaza, Ssekabaka Kateregga yamuwa ekitundu kye yawangula ng’akifugira mu linnya Katambala.

Omuliga Kibeevu: Ye yalya Bulandoganyi, n’agoba Nnamuyonjo.Owesiga Kibeevu e Ssi-Bukunja, Kyaggwe mutabani wa Ssentumbwe owomuuba e Mpanga-Nnakabiso, Mawokota muzzukulu wa Ndalu owessiga muzzukulu wa Mbaale. Kibeevu yali muzira nnnyo mu ntalo era e Kyaggwe yagendayo ne Ssekabaka Mawanda (eyafuna erya mawanda olwa nnyina okuwandanga ng’ali lubuto lwe) ngalwana ne Nnamuyanja eyali mu Bukunja. Mawanda bwe yamala okuwangula n’agoba Nnamuyonjo mu Bukunja, naasimbira Kibeevu omutuba ku luzozi Ssi.

Olwo nno si kwe kufuuka obutaka bw’Abaliga obukulu mu Bukunja, Kyaggwe era bwe Butaka Kibeevu owessiga gy’atuula. Wempandikira bino nga mpulira akasambulabbwa akokujweteka ba ssaabanyala n’okuziyiza Kabaka okulambula abavubuka mu kyaggwe nga 12-09-09. Abaliga n’Abaganda mwenna mujjukire nti ensi yaffe Buganda yagula musaayi. Mutusanyusa nnyo buli lwe musimbira ekkuuli ebintu ebifutyanka kabaka n’eggwange lyammwe Buganda okutwalira awamu.

Omuliga Luzige: Ono yawangula Buddu, Abaliga ne tulya obwa Ppookino.Obwa Ppookino nnazzikuno nga bwa Baliga kubanga Buddu yawangulibwa omuliga Luzige omugabe wa Ssekabaka Jjunju. Luzige Ppookino eyasooka ava mu Ssiga lya Ssekasamba mu mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro.

Ow’Endiga Yiga ye yadda ku bwa Ppokino ku Ssekabaka Jjunju, ava mu ssiga lya Ssekasamba mu Mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro.

Omuliga Yiga: Naye yalya obwa Ppookino ku Ssekabaka Jjunju. Luwalira yabulya nga Ssemakookiro yali ku Namulondo.

Omuliga Luwalira: Ono yalya obwa Ppookino ku Ssekabaka Ssemakookiro, ava mu ssiga lya Ssekasamba mu mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro. Bannabuddu baamuggyako n’enjogera egamba nti “okyemanyi, Omunyoro mwa Luwalira”. Ekyo kyava mu kubaagala nnyo.

Omuliga Nkonge Namujulirwa: Ono obwa Pookino yabulya ku Ssekabada Ssuuna II ne ku Ssekabaka Muteesa I, ava mu ssiga lya Ssekasamba mu mutuba gwa Namujulirwa e Kisozi, Buddo mu Busiro. Muteesa yamwagala nnyo era olw’okumujulizanga ku nsonga ezitali zimu abantu baamukazaako erya Namujulirwa kyokka nga ye yali ow’erinnya Nkonge.

Ezziga ly’omusajja liva wala naye kigambibwa nti lumu Namujulirwa yakaabira emmere abantu abaali basindikiddwa kabaka bwe baatema ennyo amatooke ge. Namujjulirwa teyalwa n’asituka n’abalwanyisa, ng’atya nti bayinza okumala emmere mu nsuku n’abulwa gy’awa Kabaka. Ebyo abadongo n’abalanga olwabagwa mu matu ne boogeza enkoba nti: Abadongo nno kye babeeredde, olwabiwulira nga boogeza nkoba nti: “Namujjulirwa Omuliga Yakaabira emmere, Yandiridde ku nte ze, Natakaabira mmere”.

Omuliga Oweek. Henry Nnyonyintono: Ono yalya obwa katikkiro.Oweekitiibwa ono ava mu ssiga lya Nakabaale e Mmembe Mawokota, mu mutuba gwa Ssekkadde Ssejjemba e Lugogo, Mawokota yalya obwa Katikkiro ku Ssekabaka Mwanga II, ye yakulembera Abasomi Abakurisitaayo okubatuusa e Kabula gye baddukira mu ntalo z’eddiini.
Nnyonyintono yali muzira nnamige wabula ebyembi nga bwe bagamba nti “Abazira bafiira mu ntalo” ne Nnyonyintono, bambi olwe Mawuki teyalwabula bwe baamuttira e Mawuki mu Ggomba mu 1889. Kigambibwa nti ekyamuttisa kulwanira ku mbalaasi waggulu ng’abalabe bamulengera.

Omuliga Aloni Kiguli: Ye yatandika emipiira gy’ebika. Omuliga Aloni Kiguli Mikiseesangwa eyali owomutuba gwa Ssekkadde Ssejjemba e Lugogo, Mawokota mu ssiga lya Nakabaale e Mmembe, Mawokota mutabani w’omugenzi Samwiri Katazza Balagadde e Nabutiti Bukuya, Ssingo ye yaleeta ekirowoozo ky’okussaawo empaka z’omupiira gwe bika byo mu Buganda, mwe bivuganyiza nga bwe byavuganyanga edda mu mirimu n’emizannyo egy’obuwangwa nga bwe kyandibadde ekirungi okutandikawo empaka z’omupiira.

Ebbaluwa Ssekabaka Muteesa II yagifuna bulungi era n’amuddamu nti alibikolako ng’akomyewo e Buganda anti mu kiseera ekyo yali akyasoma e Bungereza.Ssekabaka Muteesa II bwe yakomawo, yayita Kiguli amunyonnole bulungi ensonga ze ezaali mu bbaluwa era okukkakkana nga kabaka abakkiriza.

Lwomwa Rev. Canon Kezekiya Kaggwa Ssekubunga
Oyo tumumanyiiko bingi kubanga si wadda ate n’abantu be abamu bakyaliwo. Omugenzi Lwomwa Canon Kezekiya Kaggwa (ne lya Kalyabagatte limusaanira) yaweereza nnyo ensi ye ng’ayita mu ddiini ne mu kika kye era n’engeri endala.

Lwomwa Canon Kaggwa Yazalibwa Isaya Mbasaakaaze Kalibwami. Nnyina yayitibwanga Saala Kitta.Yazaalibwa Rev. Tomasi Ssenfuma.Lwomwa Canon Kaggwa yatonnya ku nsi mu mwaka 1877, n’afa nga 17 September, 1967.Yaziikibwa ku Kkanisa Luttiko e Namirembe.

Lwomwa Sekubunga, Obwawule bw’ekkanisa yabufuna mumwaka 1911, obwalwomwa n’abulya mu 1937. Emirimu gyombi emizibu yagigatika n’agikola okutuusa lwe yafa.Canon Lwomwa Kaggwa yayagala abantu ba buli ngeri.Teyasosolanga mu bantu olw’eddiini zaabwe oba amadaala gaabwe oba amawanga gaabwe, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, bonna yabayisanga ng’abantu.

Omuliga Lutalo e Buyija. Yali ayitibwa Ssembabulidde. bwe yalaga obuzira mu ntalo za Ssekabaka Nakibinge n’alondebwa okutuusanga ku kabaka ebifa ku lutalo buli kiseera. Kye yava ayitibwa Lutalo.

Omutaka Mpungu e Bweya. Oyo mutabani wa Nakabaale e Mmembe .Ssekabaka Kateregga gwe yagaba okugaziya Obuganda mu Bugwanjuba.Mu biro ebyo Abanyoro baali ba maanyi nnyo naye Mpungu teyatya kubatambaala. Newankubadde nga yalwawo okubasiguukulula naye ekyo yakikola, n’abongerayo mu Bugwanjuba. Kabaka okumwebaza, kwe kumuwa okufuga ekitundu kye yawangula, ng’akifugira mu linnya KATAMBALA.

Omuliga Ssemukulungwa: Ono ye yasikira Luwalira, obwa Ppookino yabulya ku Ssekabaka Suuna II.
Omulongo Dawudi Wasswa: Ono ava mu ssiga lya Mpungu eyalya obwalwomwa mu ntalo z’eddini, naye yalwana nnyo mu ntalo z’eddiini.Balwanyi banne baamutuuma kafulu olw’okumanya ennyo okukuba emundu.
Omuliga Omutuukirivu Bruno Serunkuuma: Yazalibwa Ppookino Namujulirwa. Yali omu ku bazira abaagumira okufa olw’eddiini.Omuntu aguma n’attibwa olw’ekintu ky’aba akkiriza aba muzira.

Omuliga Omutuukirivu Mukasa Kiriwawanvu: Mwana wa Lumanyika Kirwamukyayi.Yasalawo okufa ku lw’eddiini empya.Omuntu aguma n’attibwa olw’ekintu ky’aba akkiriza aba muzira.Era ono aba wa Ndiga.
Abaliga bajjukirwa nnyo ng’abaali abazira ennyo mu ntalo era mpozzi kyandiba ng’obuzira buno baabugya ku Kibuuka Omumbaale gwe baggya e Ssese ate oluvannyuma n’afuuka nga ow’ekika.

Omuliga Dokita Donoziyo Bbosa Baamundaga Kaddu: Ono yali musawo wa kizungu omutendeke obulungi era eyayagala ennyo omulimu gwe ogw’obusawo wamu n’eggwanga lye Buganda okutwalira awamu.
Dr M.B. Nsimbi bw’aba anyumya ku muliga ono, agamba nti Kitaawe ye nguli Petero Kaddu Byakusaaga ava mu mutuba gwa Kinaagomba, mu ssigga lya Ssemiti e Buyanga, mu mawokota. Kitaawe yali muweereza mu kereziya y’e Katende, ng’akola mulimu gwa busaakirisitiya. Petero yafa mangu, n’aleka Baamundaga nga bbujje. Nga bwetugamba nti “Nkoba zambogo, zeggya zokka mu bunnya”, ne Baamundaga yeesitula yekka okuva wansi kitaawe we yamuleka. Yava buto nga mujagujagu.Yasuubula ku mbugo n’azitundanga mu katale e Mpigi. Nnyina Cecilia Namwanje Sibaaliramu yamuyigiriza okulima n’akuyiga.

Baamundaga ne nnyina baasengukira ku kyalo Muzinda, mu Busiro, Baamundaga n’ayiga emizannyo gyonna egy’Ekiganda n’egy’Ekizungu.Mu kigwo yali tawunyikamu. Mu kwesa yali mmo, anti nga banne abagobya nkaaga.Yagenda n’ayiga okukuba akadingidi n’okuyimba n’asinga n’abakulu. Yakubiranga nnyo mu maduuka e Buloba, abaamulabanga ne beewunya okulaba ebbujje erikuba endingidi neyimiriza n’abatambuze. Abantu baalowooza nti omulenzi oyo bw’alikula aliba mutongooli kkungwa sso nga liiso ddene (alaba wansi ne waggulu) yali amuterekedde omulimu mulala nnyo Oluganda lulimu engero nnyingi eziyigiriza ebintu ebya buli ngeri. Olumu ku zzo lwe luno, “Omukisa nkukunyi, tegutuulirwa”. Ogwa Baamundaga gwaggyira mu kadingidi, ggwe anti wuliriza.

Lumu yebba ku nnyina n’akwata akadingidi ate nga naye bw’ayogera byonna bye yagala okwogera. Akadingidi kaagumbya n’abatambuze, abasajja n’abakazi, abakulu n’abato, nga beerolera ebbujja erikuba akadingidi okuzaama.

Mu baagumba nga banyumirwa akadingidi ka Baamundaga mwe mwali omusosodooti eyamanya nga Baamundaga mulekwa n’ayagala amutwale kussomero, ku kadingidi ayongereko amagezi amalala.omuzirakisa oyo ebigambo bwe yabyanjulira sibaaliramu kata afe essanyu. Ennaku zaayitawo mbale baamundaga n’atuuka mu ssomero e Lubaga, wuuyo st Mary’s Kisubi.Okulinnya akasozi Makeerere teyakusangamu buzibu, n’atandika omusomo gw’obusawo ogwalema banne abamu beyasoma nabo. Ogwo yagukuba mangu olukumutwe mu mwaka 1927. Yawandisiiwa ng’omusawo mu 1930. Mu masomero gonna, yali kafulu mu mizannyo egyalimu. Mu Makerere yali kapiteeni wa ttiimu y’omupiira. Obusawo yabutandiki mu 1927. Yali omu ku basawo abasatu Bannayuganda abasooka mu Uganda; (Baziwaane), (Bamugye) naye. Yakolera mu bibuga bya Uganda bingi.

Yali omu ku basawo abaalwanyisa ennyo endwadde ya kawumpuli eyali eyagala okumalawo Bannayuganda.

Mu 1936, Baamudanga yali mu kibuga Butyaba mu Bunyoro. Eyo gye yazzizza gwe baali bayita omusango ogwalema okuwaaba. Yagenda n’alongoosa omuzungu eyali agudde ku kabenje mu nnyonyi, n’amuwonya. Abazungu abamu abaalimu katwewungu bwe baakiwulira ne bagamba nti yakola kivve, asaana kutwala luzira asibibwe. Ani yamuwa obuyinza okulongoosa omuzungu? Bagamba nti “akusinga akukubya gw’okutte”, Baamundaga yatwalibwa e Luzira n’asibibwa ngalinda okuwoza ogw’okulongoosa omuzungu, naye byali bya mpuna, ( ng’omubbi bamubbye). Anti baali bamutwala mu kkooti okumuwozesa, ebbaluwa n’emidaali n’ebirabo ebyava ewa Ssekabaka George VI okumwebaza olw’okuwonya obulamu bw’omuzungu ne bituuka. Awo omusango wegwakoma; ezaali ennaku za baandaga ne zifuukirayo essanyu lye. Namugereka bwatyo bw’akola, kyeva agya amayembe ga segwanga ku mutwe n’agazza ku magulu!

Baamundaga yayagalanga nnyo eggwanga lye n’ebyobuwangwa ne Baganda banne. Baamundaga yakola ekyewuunyisa kubanga Ssekabaka Muteesa ekigere kye ekisajja kyali kiremye mu malwaliro mangi naye ne bamamuzigirira Baamundaga n’akijjanjaba n’akiwonya mu 1958. Muteesa bwe yasanyuka ennyo n’amuwa n’okukulira amalwaliro gonna aga Buganda.

Baamundaga, amagezi ge gonna n’amaanyi ge yabiwaayo okujjanjaba abalwadde.
Teyayimbagatanya mirimu ng’abasawo abamu bwe bakola. Abaana be bonna yabaagalanga nnyo, kye yava abatwala mu masomero bonna ne basoma. Dokita Baamudanga Yafa Nga July 4 1978, n’aziikibwa Nga July 6 1978.

Omuliga Rev. Dokita George William Kiyingi Kabaale Baamudanga: Omukulu wa Seminaliyo y’e Jinja ate nga ye mumyuka wa Bishop waayo, Dokita Mathias Wasswa,

Omuliga John Mpanga (B.Com, M.Com.MBA). Mutabani wa Dokita Baamundaga eyasoma obulungi ebyenfuna. Omuliga Twase: Ebyafaayo bya Twase yabikolera mu kucanga mupiira. Y’omu ku basambi b’omupiira abaatikirivu abaabaddewo mu Yuganda. Yagusamba ku Michwa II ne ku Miteesa II, abantu ne bagambanga nti “Ekyo kirungi ng’omupiira gwa Twase”.

Ekiseera Twase kye yasambiramu ennyo omupiira, empaka z’okugatta Uganda ne Kenya we zaakalambirira, nga Uganda erumizza engabo amannyo.ekyo tekyagaana Uganda kwabalagana na Kenya mu mpaka z’omupiira.omupiira gwanyumira nnyo abalabi kubanga Twase yagucanga n’adda ne mu kati, Uganda n’ewangula. Abayimbi oluusi baba ng’abalaguzi kubanga bayimba nti “Omupiira gwali gwa kugatta nsi naye Twase yasamba gwa kugattulula”. Okuva olwo eby’okugatta Kenya ne Uganda tebyaddayo kuwulirwa.

Omuliga Bakongola: Ye bwe yakubanga engalabi ku Muteesa II ng’omuntu ayinza okutya ng’alowooza nti anaagyasa ate nga mu kunyuma eri wala.
Omuliga Fr. Bbaaziriyo Lumu: Omu ku baana abasatu enzaalwa ye buddu abaali abasaale okwesogga n’okusaasaanya eddiini y’Obukristu. Kati emyaka giweze kikumi be ddu wempaaniikira bino mu Gatonnya 2013.

Abendiga ab’ebyafaayo bakyaliwo era tetujja kusobola kubawandiika bonna mu kitabo kino.Katulowooze ku kuwandiikayo ekitabo nga kiraga Baliga ba byafaayomu bujjuvu.
Omuliga Dr. Fredrick Nkonge: Musawo musawo omutendekeke ennyo era atendeka n’abasawo abalala. Waliwo Omulamuzi omukulu Solome Bbosa n’Omulamuzi omukulu Nkonge, sibamanyi nnyo naye bateekwa okuba n’akakwate ku Ndiga.