Amawulire

Kyali Kijjobi e Mbaale

Kyali Kijjobi e Mbaale

Kyali Kijjobi e Mbaale

Abazzukulu okuva e Bule ne Bweya enkoko twazikwata mimwa ne tutandika okweyiwa ku  Kiggwa kyaffe kino. Essaawa zagenda okuwera ennya ez`enkya nga abagenyi abakulu, bajjajjaffe  ab`Amasiga wamu n`abakulu b`enzikiriza nga bakkalidde bulungi mu bifo byabwe. Ye Jjajjaffe  Lwomwa yatuuka ku ssaawa ttaano nga yajja n`omugenyi we ow`enjawulo – Omutaka Omukulu  w`Ekika ky`Amazzi g`Ekisasi, awamu n`abakungu be ab’oku mwanjo omwali Omumyuka wa  Katikkiro w`Ekika – Omutaka Eria Buzaabo Lwasi, n`Omuwandiisi w`Ekika – Owek. Robert Nviiri.

Olunaku lw`Omukaaga nga 18 March 2023, e Mbaale mu Mawokota awali obutaka bwaffe  ab`Endiga obukulu wawuuma ne wakatagga! Anti Jjajjaffe Lwomwa ku lunaku olwo kwe  yatugabulirako ffenna abazzukulu be ekijjulo makeke nga atuyozaayoza era n`okutukulisa  okuwangula Engabo y`emipiira gy`Ebika by`Abaganda omulundi ogw`asooka bukya mpaka ezo  zitandikibwawo.  

Abazzukulu okuva e Bule ne Bweya enkoko twazikwata mimwa ne tutandika okweyiwa ku  Kiggwa kyaffe kino. Essaawa zagenda okuwera ennya ez`enkya nga abagenyi abakulu, bajjajjaffe  ab`Amasiga wamu n`abakulu b`enzikiriza nga bakkalidde bulungi mu bifo byabwe. Ye Jjajjaffe  Lwomwa yatuuka ku ssaawa ttaano nga yajja n`omugenyi we ow`enjawulo – Omutaka Omukulu  w`Ekika ky`Amazzi g`Ekisasi, awamu n`abakungu be ab’oku mwanjo omwali Omumyuka wa  Katikkiro w`Ekika – Omutaka Eria Buzaabo Lwasi, n`Omuwandiisi w`Ekika – Owek. Robert Nviiri. 

Emikolo gyajjibwako akawuuwo ku ssaawa ttaano n`eddakiika ana (5. 40) ez’enkya n`okusaba  okwalimu ennyingo ssatu. Ennyingo eyasooka yakulemberwa Omuwalimu era Omutaka Yusuf  Ali Kabaale. Eyokubiri yawomwamu omutwe Rev. Father Claudio Ssegonja okuva mu  Nnakawuka Catholic Parish. N`eyokusatu n’etembetebwa Rev. Steven Lumu Lwasi okuva mu  Mutundwe COU Parish. Bakadde baffe abo bonsatule b`atukubiriza okulaga okusiima kwaffe eri  Omutonzi olw`ekkula lye yatukolera okuwangula Engabo ey`omwaka 2022. Ebigambo  by`abakulu abo by`ajjulirizibwa ebya Jjajja Lwomwa, Omutaka Eng. Daniel Bosa, bwe  y`atukubiriza okwewala okuvvoolanga eby`obuwangwa bwaffe nga twesigama ku nzikiriza zaffe  ze tusinzizaamu Omutonzi waffe. 

Nga okuwonga omukolo eri Omutonzi kuwedde, kalabaalaba w`omukolo y`abikkula ekyama nti  yadde ensonga enkulu yali ya kujaganya olw`obuwanguzi bwaffe mu mipiira gy`Ebika, waaliiwo  emirimu emirala emikulu egyali gigenda okukolebwa. Mu buwufu obwo yasaba Jjajja Lwomwa  okukola omulimu ogwasooka – okutongoza oluyimba olutongole olw`Ekika kyaffe. Jjajja  oluyimba yalutongoza nga awerekerwako emizira egy`omwanguka okuva mu bazzukulu ffenna.  Awo ffenna ne tugolokoka ne tuteeka ekitiibwa mu Ggwanga lyaffe, Ensi yaffe n`Ekika kyaffe  nga tuyimba oluyimba lwa Uganda, olwa Buganda nolw`Ekika ky`Endiga. 

Ebyo bwe byaggwa, Ssentebe w`ekyalo okuli Ekiggwa kyaffe, omulongo Kamya Kisitu  ow`effumbe y`aweebwa omukisa okutwaniriza mu kitundu kye. Kirina okujjukirwa nti Effumbe  yemu ku ttiimu ze twafufuggaza mu lugendo lwaffe olw`okuwangula engabo. Yadde ekyo kiri  bwekityo, Ssentebe Kamya Kisitu yekakaba n`atuyozaayoza mu mwoyo gwobwa sseruganda.  Nga amalirizza, yayita Councilor w`ekitundu ku Mpigi Town Council – omwami Peter Kiggundu 

Tamale, okubeerako by`atutuusaako. Ono yatutegeeza nga Ekiggwa kyaffe bwe kiri ekimu ku  by`obulambuzi ebikulu ebiri mu Mpigi Town Council. Kye yava atusaba okukikulaakulanya  kituukane n`ettutumu lye kirina mu kitundu era ne mu nsi yonna. 

Kalabaalaba w`emikolo yaddamu okusaba Jjajja Lwomwa okukola omulimu ogwokubiri. Guno  gwali gwa kwanjula Olukiiko Olufuzi olw`Ekika. Luno wammanga lwe lukiiko olwo nga bwe  lw`ayanjulwa Lwomwa: 

  1. Katikkiro – Omutaka Edward Ssemukuutu. 
  2. Omumyuka wa Katikkiro – Omutaka Eria Buzaabo Lwasi. 
  3. Owa Guno na guli – Haji Yusufu Ali Kabaale. 
  4. Omukubiriza – Christopher Kalyesubula Kaduumya. 
  5. Omumyuka w’Omukubiriza – Omutaka John Ssebwato. 
  6. Omuwandiisi – Owek. Robert Nviiri. 
  7. Omumyuka w`Omuwandiisi – Omutaka Badru Kiyingi. 
  8. Owamawulire – Omutaka Steven Sserunkuuma. 
  9. Ow`entekateeka n`enkulakulana – Omutaka Paul Kiyingi Luwombo. 
  10. Ekikula ky`abantu, abavubuka n`emizannyo – Muky. Justine Nansereko Namitala. 11. Ow`ebyensimbi / Omuwanika – Omutaka Badru Kiguli. 
  11. Omumyuka w`Omuwanika – Mw. Lawrence Kasakya. 

Wano omukolo we gwatuukira ku mulamwa omukulu ogw`olunaku – okwanjulira Lwomwa  Engabo eyawangulwa ttiimu yaffe. Team Manager, Team Captain abazannyi n`abakungu ba  ttiimu b`asitula engabo ne bagitwalira Jjajja Lwomwa we yali atudde. Emizira, obuluulu  obw`olulekereeke awamu n`okusaakaanya eby`omwanguka by`asaanikira ekifo kyonna.  Ebifaananyi ebyakubibwa byali lukunkumuli; anti nga kyenkana buli omu yewagaanya n`essimu  ye abeereko ekifaananyi kyakwasa! Ddala ddala kyali kijjobi! Abantu bangi abeebazibwa mu  ngeri ey`enjawulo. Mwabo mwalimu Dr. Sarah Nkonge, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo,  Omut. Eria Buzaabo Lwasi n`omwami Ken Nakabaale owa Kenny Products. 

Waliwo abantu kinnoomu abaasiima ttiimu yaffe mu ngeri ey`enjawulo. Omwami Ken  Nakabaale y`akwasa buli muzannyi ebbaasa eyalimu emitwalo etaano. Owek. Joyce Nabbosa  Ssebuggwawo naye buli muzannyi namukwanga ebbaasa eyalimu emitwalo abiri. Abazannyi era  b`akwasibwa embuzi okwokebwa bagiriirewo. 

Ekyaddirira kyali kya kalabaalaba w`emikolo okwanjula bajjajja ab`Amasiga abaaliwo. Bano baali  Jjajja Ssekasamba, Jjajja Ssemiti, Jjajja Kiguli, Jjajja Buvi, Jjajja Ssekakoni, Jjajja Namusota, Jjajja  Kibeevu, Jjajja Kaggwe ne Jjajja Nakabaale. Nate era yayanjula ne Bakatikkiro b’Amasiga  abaaliwo omwali owa Kibeevu, Kaggwe, Luwanga, Lutalo, Kiguli, ne Ndalu.

Aboogezi ku mukolo baali bangi era n`ensonga nnyingi ezayogerwako. Mu ezo mwalimu  okukuuma ennono n`obulombolombo byaffe, okwekulakulanya mu maka gaffe, okukolerera  Ekika era n`okukiweereza, okuwuliziganya era n`okwagalana. Ye Jjajja Lwomwa nga ekiseera kye  kituuse okwogerako gyetuli, omukisa yasooka n’aguwa owek. J. N. Ssebuggwawo eyatukubiriza  okweyambisanga enteekateeka za Gavumenti ez`ebyenkulakulana nga eya Parish Development  Model. Jjajja era yawa omugenyi we ow`enjawulo omukulu w`Ekika ky`Amazzi g’e Kisasi,  Omutaka Wooyo David Muyanja, akadde naye n`atubuuzaako. Ebigambo bya Jjajja Lwomwa  byali bya kusiima emirimu emirungi egy`eyolekera mu buwanguzi bwa ttiimu yaffe. Jjajja era  y`ategeeza nti waali waliwo emirimu mingi egitegekeddwa nga omwo mwemuli okuzimba  bbugwe ku Kiggwa era n`okumuzimbira ennyumba entongole mu kifo ekyo. Yavumirira nnyo  emize emigwiira, nga ebisiyaga, egitandise okusensera ensi yaffe. Yeebaza abo bonna abaali mu  nteekateeka y`omukolo era n`ayagaliza buli omu ekiseera ekirungi. 

Omulimu ogwaddirira Jjajja gwe y`akola kwali okutongoza enteekateeka Nnamutaayiika  ey`emyaka etaano okugenda okutambulizibwa emirimu n`ensonga z`Ekika. Enteekateeka eyo  y`ateekebwa mu kitabo ekitegeke obulungi era kkoppi zaakyo, kasita Jjajja yamala  okugitongoza, ne zitandika okutundibwa mu bazzukkulu abaaliwo. Buli kkoppi egula ssiringi  emitwalo ebiri. Ku olwo, enteekateeka eno yayitibwayitibwamu mu bufunze Omukubiriza Omutaka Christopher Kalyesubula Kaduumya. Kyategerekeka nga waliwo ebimaze  okutuukibwako, gamba nga okutandikawo omutimbagano omutongole ogw`Ekika oguli ku  ndagiriro www.abazirandiga.website. 

Omulimu ogwasembayo gwali ogw`okutema evvuunike erya bbugwe w`Ekiggwa. Lwomwa nga  abugiriziddwa ab`Amasiga abaaliwo, wamu n`abakulu abalala, yatema evvuunike lya bbugwe  w`Ekiggwa. Kyategeezebwa okuva mu bakulu abavunanyizibwa ku mulimu ogwo nti gwa  kumalirizibwa mu bbanga lya myezi mukaaga gyokka. 

Essaawa zaali zewerekedde kubanga zaali ziweze mwenda. Bwatyo Jjajja Lwomwa, mu kiseera  ekyo, yatandika okugabula bazzukulu be ekijjulo makeke nga kimaze okusabirwa Rev. Eriya Ssekyaya Katikkiro wa Ssekasamba! 

Owange, okutambula kulaba ate okudda kunyumya. Naye amazima ddala kyali kijjobi e Mbaale!