Ettaka Ly’ekika

Ettaka Ly’ekika

Abendiga, ku butaka bwabwe e Mbaale Mawokota, tebalinaayo ttaka ttongole lya butaka bwabwe mu kiseera kino era n’abamasiga ekkumi n’omusanvu (17) nabo tebalina ttaka ttongole ku butaka bwabwe buno.Kino kye kimu ne ku b’emituba, ssaako n’abennyiriri okuggyako abo abeekozeemu omulimu ne bazzukulu baabwe ne bafunayo ettaka nga baligula oba nga bazzukulu baabwe balibatonera.

Ekika ky’Endiga kyagula desimolo amakumi ataano ku muzingo gw’ettaka ogwo 8, ekibanja ekye 102 e Mengo ku kibuga, mu ssaza Kyaddondo ku Nnyanja ya Kabaka e Mmengo.

Omu ku bajjajjange Pawulo Kikwanguyira Banadda Kiyingi omusajja omuzira ataayatiikirira ng’ali ne Yosefu Sserunkuuma Nkalubo owe Kamuli ne Erenesiti Kibuuka owe Kabowa, ne Kyobe Tito Ziritwawula owe Wampeewo be baateesa okugula ekibanja ky’ettaka mu kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga.Ekibanja kino baagula, awo ku lubalama lw’Ennyanja ya Kabaka e Mmengo. Tubeebaza nnyo basajja ba kabaka abo.

Ekyapa ky’Ettaka ly’Ekika kyaffe

Ettaka lya yafiisi y’ekika kwe yazimbibwa lya kyapa era nga ekyapa ekyo kiri mu mannya ga bataka, abamasiga basatu abalikuuma, ku lw’ekika ky’Ediga.

Abakuumi b’Ettaka lyaffe

Abakuumi b’ekyapa ky’ettaka balondebwa bulondebwa mu bamasiga ekkumi n’omusanvu (17), buli lwe wabaawo ensonga eyeetaagisa okulonda omukuumi oba abakuumi.

Si tteeka nti omukuumi ateekwa kuva mu ssiga gundi oba gundi oba yadde okulondebwa mu mpalo, nga bwe kiri mu kulonda Lwomwa. Bino we bigendedde okubaawo ng’amannya g’abataka ag’abakuuma ekyapa ge gano:

1. Owessiga Ssekkoba, Charles Sseruwule
2. Owessiga Ssekasamba, Michael Mbugaano
3. Owessiga Nakabaale, Mulisiyo Bbosa

Kyakusaalirwa bonsatule baatugendako dda !!! Olukiiko lw’ekika olwakasolya luteekateeka okulonda abanadda mu bifo byabwe.

 

Ettaka eryaweebwa Ekika ky’Endiga

Ekika ky’Endiga kyategeezebwa mu butongole nti omugenzi Ssalongo Kati Sserunkuuma, e Kitavujja Mbaale Mawokota , mu ddaame lye, yaleka awadde ekika ky’Endiga yika z’ettaka bbiri.
Ekika ky’Endiga kyategeezebwa nti ettaka eryo, eriri ku kyapa ekyalyo, liri awo ku nkingizi z’ekifo ekiyittibwa “mu kasaawe”, e Mbaale, Mpigi Mawokota.
Kirowoozebwa nti ettaka lino, terinnaba kuzzibwa mu mannya ga kika kya Ndiga. Kyokka waliwo esuubi nti ensonga enkulu ng’eno, Olukiiko lw’ekika ky’Endiga olwakasolya lunaagikwata mavumbavumba.

Ennono Y’obwajjajja Mu Ndiga

JJAJJAFFE YE MBAALE SSO SI SSEKKOBA -

Omukulu ayitibwa Jjajja w’ekika kyaffe eky’Endiga ye Mutaka Mbaale agalamidde e Mbaale mu kabira akali okumpi n’essomero eriyitibwa Kibuuka Memorial School, e Mpigi, Mawokota.

ABAANA BA JJAJJAFFE MBAALE -

Ekimubeeza Jjajja w’ekika ye nsonga nti Amasiga ekkumi n’omusaanvu (17) agali mu kika ky’Endiga gava mu baana omutaka Mbaale b’azaala mu bukulu bwabwe: 1. Ssekkoba 2. Ssekizimu Ndalu 3. Nambi Nabbosa 4. Bbosa Buvi Ssekkoba eyali aweereddwa Wannema ng’endobolo yadduka e Ssese nadda e Busanga Kkoome-Kyaggwe bwe yawulira nga omulwanyi Kibuuka muzzukulu we Kalyesubula gwe yalagirira Ssekabaka Nakibinge baamutta. Ssekkoba y’azaala Lutyabi, Lutyabi n’azaala Bbosa Wakikunga ow’e Mutungo-Kitiko, Kyaddondo nga Bbosa Wakikunga y’azaala Kalyesubula Lwomwa ow’akasolya eyasooka era avaamu abaana abana abakola amasiga amalangira omuli Sserunkuuma, Luwanga, Namusota ne Ssemiti. Noolwensonga eno, buli Muliga yenna, Omuganda, azzukuzibbwa Omutaka Mbaale, oba mu njogera endala, ekika ky’Endiga kisibuka mu Mutaka Mbaale agalamidde e Mbaale mu Mawokota. Ssekabaka Mulondo bwe yawa Kalyesubula Lwomwa, obukulu bw’ekika obwakasolya bwonna, obukulu obwo bwazingiramu n’obwajjajja. Eno ye nsonga lwaki omukulu w’akasolya Lwomwa mu kika ky’Endiga tumuyita Jjajja. Obukulu buno Obwalwomwa busimbidde ddala mu Jjajja Mbaale nga bw’olaba wano mu muti oguli wammanga.

 

OMUTI OGULAGA OBWAJJAJJA OKUVA MU MBAALE MBAALE

OBWAJJAJJA OKUVA MU MBAALE MBAALE

 

OKUSIKIRA OBWALWOMWA -

Abaana ba Lwomwa Kalyesubula abana baatuula ne bateesa era ne bakkiriziganya okusikiranga entebe ya kitaabwe Lwomwa Kalyesubula ey’Obukulu bw’Ekika ky’Endiga mu mpalo bo n’abaana baabwe era naguno gujwa bwe kiri mu masiga ago amalangira. Amasiga amalala ekkumi n’asatu (13) agatali malangira be baana n’abazzukulu abava mu batabani ba Mbaale ababiri Ssekizimu Ndalu ne Buvi Bbosa. Mu bo temuva Lwomwa era tewali mbojjanyi yonna. Kale twebaza abaatusooka olw’enteekateeka eyo ennungi etaleetawo kusowagana mu baaluganda, abako n’abeemikwano. Kale teebereza, kati we twogerera emyaka giyise mingi nnyo nga aaemateeka w’ekika kyaffe oyo akoleddwa, ate nga si muwandiike, kyokka olw’obwesimbu tewali yali avuddeyo nti yeemulugunya ku nteekateeka eyo. Kyakusaalirwa ebika ebimu biseeseetuse ku nnono. Abakulembeze mu bika obawulira nga bagujubanira entebe, n’ekivaamu oluusi kulya nsowole, ate olulala kukutula mu bika nga kati bitandise okumeruka. Guno mululu gwennyini, bwa nnakigwanyizi, obulina okulanyisibwa kubanga wayinza n’okubeerawo abakussaamu ensimbi nga bwe tulaba ku bizibu ebiri mu masaza agamu. Buganda si Yuganda ekola semateeka kumakya ate n’emwemenyebwa eggulo, era si Yuganda gye baddira ebyalo ne bifuuka disitulikiti. Nze akuwandiikira bino Yuganda baagintamya nasigala mu Buganda ne paasipooti yaabwe seetaaga ndifuna eya Buganda nga twewadde federo yaffe. Mwe mugira mwereega mwereega n’abataatuukako mu kisaakaate ne bafuuka abafuzi mulibuuka n’akabalangulo.

MBAALE ANYWA OLUZAALO, ENDIGA EGAZIWA -

Lwali lumu jjajjaffe Mbaale bwe yali nga avuba ensonzi mu Kkoba ne basisinkana ne Ndugwa ow’Olugave, emboozi bwe yagwa amakerenda, Ndugwa n’abuuza Mbaale nti olinayo omwana eka? Ko Mbaale nti bwondeka musajja wattu, omwana nga muggya wa? Ndugwa yamuddamu nti kankulagirire omusawo agaba oluzaalo. Ko munne nti nze amatu nteze. Ko Ndugwa nti omusawo ali Ssese, erinnya lye ye Wannema Mukasa. Nga alimu empewo bwe batamulaga muliro, waayitawo ennaku ntono, Mbaale n’alamaga olwe Ssese okunoonya ezzadde.Wannema Mukasa yasangibwayo bulungi era teyakalubiiriza Mbaale ng’amuwa ddagala lya luzaalo. Mu kumuwa eddagala yamugamba nti genda osimbe eddagala lyenkuwadde eriyitibwa Kalyesubula kyokka omwana gw’olisooka okuzaala ogenda kumumpa abeere ndobolo yange, nange manye nti nze nakuwa oluzaalo. Mbaale yagamba nti ayogedde gw’oludde. Eddagala teyalirwiisa n’alisiimba mu luggya lwe ne limera.lyali kye lijje limere, jjajjaffe omukyala n’afuna omwana mu lubuto. Okuzaala bwe kwatuuka yakubawo ddenzi.Mbaale mu ssanyu eringi omwana n’amutuuma Ssekkoba okkujjukira omugga Kkoba ogw’omukisa, Ndugwa mwe yamuweera amagezi agamufunyisa omwana.Ku Ssekkoba, jjajjaffe kwe yazza abaana bano: Ssekizimu Ndalu, Nnambi Nabbosa, Buvi Bbosa. Awo nno nga Endiga ng’egaziwa!

EDDAAME LYA JJAJJAFFE MBAALE

Jjajjaffe Mbaale bwe yali anaatera okufa n’ayita abaana be n’abategeeza nti mukulu waabwe Ssekkoba yali tayinza kumusikira kubanga yali musiige wa Wannema Mukasa e Ssese ng’alinayo obuvunaanyizibwa bunene. Bwe yamala okwogera ebyo, n’agamba Ssekizimu Ndalu nti naawe saagala onsikire kubanga wakola ekivve n’osobya ku mwannyoko Nnambi Nnabbosa. Kye nnava nkugoba nawano, mu kika sikugobyemu naye toyinza kunsikira olw’ekivve ekyo kyewakola. Muto wammwe Buvi Bbosa y’ajja okunsikira. Mbaale nate yagamba abaana nti baana bange njagala mukakase ekika era omuziro gwamwe. Baana bange temulyanga ndiga, Endiga gwe muziro gwange era gwe muziro gwamwe okuva leero n’ekiseera kyonna. Newankubadde nga mbadde ngirunda naye mbadde sigirunda lwakugirya wazira mbadde ngirunda lwakugyagala. Nammwe bwe MBAALE ANYWA OLUZAALO, ENDIGA EGAZIWA - 

munaabanga mwagala munaabeeranga n’endiga mu maka gammwe naye nga temuzikola kabi konna. Alirya endiga nga si mwana wange era nga si muzzukulu wange.Okuva olwo n’okutuusa kati, abaana n’abazzukulu ba Mbaale tebalya Ndiga. Oluvannyuma Mbaale teyadda ku bino nti Kye weetema olwadde, bw’owona tokiwa, yatuukiriza obweyamo bwe yawa Wannema Mukasa. Yasitula omwana we Ssekkoba n’amutwalira Wannema Mukasa okuba endobolo ye nga bwe yasuubiza ng’aggyayo oluzaalo. Eddagala ly’oluzaalo Mbaale lye yasimba mu luggya lwe lyamera ne livaamu omuvule omunene oguyitibwa Kalyesubula. Omuvule Kalyesubula guli kumpi nnyo n’essomero eriyitibwa Kibuuka Memorial School e Mpigi mu Mawokota, eryazimbibwa mumwaka 1910. Kigambibwa nti Abedda nga n’essomero telinnabaawo baatwalanga embuzi ne bazisiba ku muvule Kalyesubula nga mulimu n’abo abagenda okusaba oluzaalo. Oboolyawo ng’omuvule ogwasookawo si gwegwo oguliwo kaakano, anti emiti egimu gisuula ensigo ne zimera nga gyo givuddewo. EKIGGYA KYA MBAALE WAKATI MU BUSOZI EKKUMI Jjajjaffe Omutaka Mbaale bwe yafa yaziikibwa ku Katunnumba k’olusozi Lwasi okuliraana ekkanisa ye Mbaale. Ekiggya kya Mbaale kikuumibwa bulungi era kiriko amayinja agatakikkiriza kubula. Ku butaka bwaffe Abaliga e Mbaale, Mawokota kwe kuli n’omukyala w’omuzira Kyobe Kibuuka ow’ensikirano Nagalemedde, muwala w’omutaka Mbajja Omukerekere e Namayumba, Bulemeezi. Ensozi ekkumi ezetoolodde awo awaazikibwa Mbaale bwe butaka bw’Aliga obukulu.Ekitundu mweziri kye kiyitibwa Mbaale. Ensozi ze zino: 1. Olusozi Kkulumba 2. Olusozi Lwasi 3. Olusozi Bunnamweri 4. Olusozi Kitavujja 5. Olusozi Mpami 6. Olusozi Mmembe 7. Olusozi Sseenene 8. Olusozi Maziba 9. Olusozi Mpanga, Nakabiso 10. Olusozi Buyanga Mu butaka bw’Abendiga obwo temuli lusozi luyitibwa Mbaale, Jjajjaffe gwe tuvaamu y’ayitibwa Mbaale.Erinya lye lye lyabuna ensozi ezo ne Ggombolola yonna eya Mutuba I e Mpigi Mawokota. Waliwo n’ensozi ezirimu obutaka bw’Abendiga omutuula abataka nga bwe tunaalaba mu maaso mu ssuula ekwata ku butaka bwaffe mu bujjuvu

 

Bikula Ekitabo

SSEKKONO TAWAANYISIBWA

 Obwanannyini bwonna buli eri muwandiisi.Tewali muntu alina kufulumya kitabo kino oba ekitundu kyakyo, okukyokyamu oba okukikozesa mu engeri endala yonna awatali lukusa lwa muwandiisi ISBN: 91070 102 025 ©Douglas Kiyinikibi Nkonge Olufulumya olusooka, Kasambula 2016 OMUWANDIISI 

Douglas Kiyinikibi Nkonge yazaalibwa mu lusuku awo mu ttuntu ku lunaku lwa Kasooba nga 24-10- 1978.Mutabani wa Ssaalongo Douglas Nkonge Kaweesa agalamidde e Bulamu, Mawokota muzzukulu wa Danieri Kiguli Kijojje agalamidde e Kyabbumba mu Busiro, muzzukulu wa Kagulire Balimuttajjo, muzzukulu wa Bwetwajja Matembe Luggya. Asibuka mu luggya lwa Kagulire Balimuttajjo, mu lunyiriri lwa Nansambu, mu mutuba gwa Mpiima mu Ggumba e Mbaale Mawokota (era nga ye Mpiima), mu ssiga lya Luwanga e Mpami Mbaale Mawokota mu kasolya ka Lwomwa, era muzzukulu wa Mbaale e Mbaale Mawokota. Musajja Muganda ey’eddira Endiga. 

 

KATONDA N’OBUGANDA, OMWOYO GUMU N’EMMEEME EMU SSAABASAJJA KABAKA AWANGAALE. 

 

OBULAMU BW’OMUWANDIISI EKITABO KINO OKUWONGA 

 

Mutabani wa Muky.Eva Nayiga muwala wa Yusufu Mulindwa agalamidde e Nakanswa mu Bukatira, Bulemeezi, muzzukulu wa Bbowaazi Wakiku e Ntambula, Ngogolo mu Bulemeezi. Muzzukulu wa Nsamba e Buwanda ow’akasolya k’ekika ky’Engabi Ensamba. Kiyinikibi yasomera Bulamu ne Bukatira Primary School, Kiwawu Senior School e Mityana n’oluvannyuma mu Nakasero Senior School gye yava okuyingira National Teachers College e Mubende gye yayigira okusomesa oluganda n’Ebyafaayo. Mu 2001 yayingira e Makerere Universty gye yakugukira mu Luganda Ebyennimi ne Kannabukokyo w’Ebyempuliziganya. Yaddayo e Makerere mu 2004 ku MA mu Kannannimiiv n’akola ekyafaayo bwe yayasanguza kannansonga ow’obubonero mu Luganda ng’ayambibwako omukenkufu ennyo Dr K.B. Kiingi era nga mu kiseera kino akola ku PhD ye Kannannimi. Asomesa mu Makerere University mu kitongole kya Kannannimi, Olulimi Olungereza, n’ebyempuliziganya. Y’omu ku baayamba ku Dr. K.B. Kiingi okuwandiika Enkuluze y’Oluganda ey’e Makerere mu 2007, ekitabo eky’ekika kino ekyasooka okuwandiikibwa mu lulimi Oluganda mu nsi yonna.Ye muwandiisi w’ebitabo: Ensulo y’Olulimi Oluganda I, Ensulo y’Olulimi Oluganda II, Empagi z’Olulimi Oluganda Ettaano, Oluganda lw’Abato mu Thematika, n’Ekitiibwa kya  Obubakattima Ennono Ebifaananyi Obutambi Okwewandiisa Ebifa ku Ndiga Ekitiibwa Kya Buganda || Ssekono Tawaanyisibwa.

 

OKUWONGA

Eri abooluganda bonna abeddira Endiga, bakyala baffe be tuwasa naddala Abemmamba ya Gabunga nze gye mpasa, abako n’ab’emikwano. Eri ggwe Kitange Omugenzi Ssaalongo Douglas Nkonge Kaweesa agalamidde e Bulamu mu Mawokota .Taata nkujjukira bulungi mu buto ng’onsomesa eby’ekika eyo nga tunoga emmwaanyi zaffe oluusi ne mu kiro amatumbi budde nga tugalamidde mu kayumba kaffe bwa babiri eyo ku mutala Namasinda ewaffe mu zaali embikke ne zifuuka ensagazi. Nze omwana wo taata, eyakukwatiranga ensawo. Kitange, amakungula gaagano nzize nnetisse kibbo kiramba.Yongera okumpa ekitangaala Taata n’okuŋŋumya kubanga omutima gwo taata gw’agaana okuwona.Munsaasirangako bataayi bwe mundabanga nga nneewunise taata owange eyambulako yali munywanyi nnyo. 

Obubakattima Ennono Ebifaananyi Obutambi Okwewandiisa Ebifa ku Ndiga Ekitiibwa Kya Buganda || Ssekono Tawaanyisibwa

EKITABO KINO

Ekitabo kino kirambika mu ensonga enkulu ku Bika by’Abaganda mu bufunze, kirambika akawonvu n’akagga ku kika ky’Endiga nga kyogera ku:buvo bwakyo, ennono y’omuziro, akabbiro n’omubala, obwajjajja okuva ku Mbaale, amasiga 17, emituba n’ennyiriri, amannya agatuumibwa, emirimu mu lubiri, Abaliga b’osaanye okumanya, Endiga n’eddiini, ebisoko, enjogera n’engero ebifa ku Ndiga, enkula y’Abaliga, Abendiga n’enkologana yaabwe n’ebika ebirala, wamu n’ensonga endala njolo z’otasaanye kusubwa.