Ennono Y’obwajjajja Mu Ndiga 

 

ENNONO Y’OBWAJJAJJA MU NDIGA JJAJJAFFE YE MBAALE SSO SI SSEKKOBA ABAANA BA JJAJJAFFE MBAALE OMUTI OGULAGA OBWAJJAJJA OKUVA MU MBAALE MBAALE OKUSIKIRA OBWALWOMWA  EBIRALA KU JJAJJAFFE MBAALE

 

 Lwali lumu jjajjaffe Mbaale bwe yali nga avuba ensonzi mu Kkoba ne basisinkana ne Ndugwa ow’Olugave, emboozi bwe yagwa amakerenda, Ndugwa n’abuuza Mbaale nti olinayo omwana eka? Ko Mbaale nti bwondeka musajja wattu, omwana nga muggya wa? Ndugwa yamuddamu nti kankulagirire omusawo agaba oluzaalo. Ko munne nti nze amatu nteze. Ko Ndugwa nti omusawo ali Ssese, erinnya lye ye Wannema Mukasa. Nga alimu empewo bwe batamulaga muliro, waayitawo ennaku ntono, Mbaale n’alamaga olwe Ssese okunoonya ezzadde.Wannema Mukasa yasangibwayo bulungi era teyakalubiiriza Mbaale ng’amuwa ddagala lya luzaalo. Mu kumuwa eddagala yamugamba nti genda osimbe eddagala lyenkuwadde eriyitibwa Kalyesubula kyokka omwana gw’olisooka okuzaala ogenda kumumpa abeere ndobolo yange, nange manye nti nze nakuwa oluzaalo. Mbaale yagamba nti ayogedde gw’oludde. Eddagala teyalirwiisa n’alisiimba mu luggya lwe ne limera.lyali kye lijje limere, jjajjaffe omukyala n’afuna omwana mu lubuto. Okuzaala bwe kwatuuka yakubawo ddenzi.Mbaale mu ssanyu eringi omwana n’amutuuma Ssekkoba okkujjukira omugga Kkoba ogw’omukisa, Ndugwa mwe yamuweera amagezi agamufunyisa omwana.Ku Ssekkoba, jjajjaffe kwe yazza abaana bano: Ssekizimu Ndalu, Nnambi Nabbosa, Buvi Bbosa. Awo nno nga Endiga ng’egaziwa! 

 

EDDAAME LYA JJAJJAFFE MBAALE

 Jjajjaffe Mbaale bwe yali anaatera okufa n’ayita abaana be n’abategeeza nti mukulu waabwe Ssekkoba yali tayinza kumusikira kubanga yali musiige wa Wannema Mukasa e Ssese ng’alinayo obuvunaanyizibwa bunene. Bwe yamala okwogera ebyo, n’agamba Ssekizimu Ndalu nti naawe saagala onsikire kubanga wakola ekivve n’osobya ku mwannyoko Nnambi Nnabbosa. Kye nnava nkugoba nawano, mu kika sikugobyemu naye toyinza kunsikira olw’ekivve ekyo kyewakola. Muto wammwe Buvi Bbosa y’ajja okunsikira. Mbaale nate yagamba abaana nti baana bange njagala mukakase ekika era omuziro gwamwe. Baana bange temulyanga ndiga, Endiga gwe muziro gwange era gwe muziro gwamwe okuva leero n’ekiseera kyonna. Newankubadde nga mbadde ngirunda naye mbadde sigirunda lwakugirya wazira mbadde ngirunda lwakugyagala. Nammwe bwe MBAALE ANYWA 

OLUZAALO, ENDIGA EGAZIWA - munaabanga mwagala munaabeeranga n’endiga mu maka gammwe naye nga temuzikola kabi konna. Alirya endiga nga si mwana wange era nga si muzzukulu wange.Okuva olwo n’okutuusa kati, abaana n’abazzukulu ba Mbaale tebalya Ndiga. Oluvannyuma Mbaale teyadda ku bino nti Kye weetema olwadde, bw’owona tokiwa, yatuukiriza obweyamo bwe yawa Wannema Mukasa. Yasitula omwana we Ssekkoba n’amutwalira Wannema Mukasa okuba endobolo ye nga bwe yasuubiza ng’aggyayo oluzaalo. Eddagala ly’oluzaalo Mbaale lye yasimba mu luggya lwe lyamera ne livaamu omuvule omunene oguyitibwa Kalyesubula. Omuvule Kalyesubula guli kumpi nnyo n’essomero eriyitibwa Kibuuka Memorial School e Mpigi mu Mawokota, eryazimbibwa mumwaka 1910. Kigambibwa nti Abedda nga n’essomero telinnabaawo baatwalanga embuzi ne bazisiba ku muvule Kalyesubula nga mulimu n’abo abagenda okusaba oluzaalo. Oboolyawo ng’omuvule ogwasookawo si gwegwo oguliwo kaakano, anti emiti egimu gisuula ensigo ne zimera nga gyo givuddewo. 

 

EKIGGYA KYA MBAALE WAKATI MU BUSOZI EKKUMI 

Jjajjaffe Omutaka Mbaale bwe yafa yaziikibwa ku Katunnumba k’olusozi Lwasi okuliraana ekkanisa ye Mbaale. Ekiggya kya Mbaale kikuumibwa bulungi era kiriko amayinja agatakikkiriza kubula. Ku butaka bwaffe Abaliga e Mbaale, Mawokota kwe kuli n’omukyala w’omuzira Kyobe Kibuuka ow’ensikirano Nagalemedde, muwala w’omutaka Mbajja Omukerekere e Namayumba, Bulemeezi. Ensozi ekkumi ezetoolodde awo awaazikibwa Mbaale bwe butaka bw’Aliga obukulu.Ekitundu mweziri kye kiyitibwa Mbaale. Ensozi ze zino: 1. Olusozi Kkulumba 2. Olusozi Lwasi 3. Olusozi Bunnamweri 4. Olusozi Kitavujja 5. Olusozi Mpami 6. Olusozi Mmembe 7. Olusozi Sseenene 8. Olusozi Maziba 9. Olusozi Mpanga, Nakabiso 10. Olusozi Buyanga Mu butaka bw’Abendiga obwo temuli lusozi luyitibwa Mbaale, Jjajjaffe gwe tuvaamu y’ayitibwa Mbaale.Erinya lye lye lyabuna ensozi ezo ne Ggombolola yonna eya Mutuba I e Mpigi Mawokota. Waliwo n’ensozi ezirimu obutaka bw’Abendiga omutuula abataka nga bwe tunaal

AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA 

AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA 

OBUKELEMBEZE AMASIGA AMALANGIRA N’AGATALI MALANGIRA  ENNYIRIRI N’EMITUBA MU MASIGA AMALALA EKKUMI N’ASATU AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA 

Ekika ky’Endiga kirimu amasiga kkumi na musanvu (17) nga ana ku go ge malangira omulondebwa balwomwa ate amalala ekkumi n’asatu geego omutalondebwa balwomwa AMASIGA AMALANGIRA N’AGATALI MALANGIRA Amasiga amalangira omulondebwa Balwomwa 1. Essiga lya Sserunkuuma, e Mpami, Mawokota 2. Essiga lya Luwanga e Mpami, Mawokota 3. Essiga lya Namusota e Maziba, Mawokota 4. Essiga lya Ssemiti e Buyanga, Mawokota AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA - Amasiga amalala nga bwe gaddiringana

ENNYIRIRI N’EMITUBA MU MASIGA  ESSIGA LYA NAMUSOTA E MAZIBA, MAWOKOTA  ESSIGA LYA SSEMITI E BUYANGA, MAWOKOTA ENNONO, EBYAFAAYO N’ENKULAAKULANA Y’EKIKA KY’ENDIGA

 OMUBALA: “Mpa alimuliisa Ndiga, Nabbosa Nabbosa, mpaawo alimuliisa Ndiga”  Endagiriro Yaffe . OBUKELEMBEZE AMASIGA AMALANGIRA N’AGATALI MALANGIRA ENNYIRIRI N’EMITUBA MU MASIGA AMALALA EKKUMI N’ASATU 5. Essiga lya Ssekkoba e Busanga-Kkoome, Kyaggwe 6. Essiga lya Ndalu e Mpanga-Nakabiso, Mawokota 7. Essiga lya Buvi e Bunnamweri, Mawokota 8. Essiga lya Ssekasamba e Busamba, Mawokota 9. Essiga lya Nakabaale e Mmembe, Mawokota. 10. Essiga lya Kiguli e Sseenene, Mawokota 11. Essiga lya Ssekakoni e Bunnamweri, Mawokota 12. Essiga lya Kaggwe e Bukaggwe- Nakabiso, Mawokota 13. Essiga lya Mpungu e Bweya, Butambala 14. Essiga lya Lutalo e Buyijja, Mawokota 15. Essiga lya Wakikunga e Mutungo-Kitiko, Kyaddondo 16. Essiga lya Nakiyenje e Bugiri-Kisubi, Busiro 17. Essiga lya Kibeevu e Ssi – Bukunja, Kyaggwe. AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA Amasiga amalala nga bwe gaddiringana - ENNYIRIRI N’EMITUBA MU MASIGA ESSIGA LYA NAMUSOTA E MAZIBA, MAWOKOTA ESSIGA LYA SSEMITI E BUYANGA, MAWOKOTA Obubakattima Ennono Ebifaananyi Obutambi Okwewandiisa Ebifa ku Ndiga Ekitiibwa Kya Buganda 

 AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA HOME : ENDIGA : OBUKELEMBEZE AMASIGA AMALANGIRA N’AGATALI MALANGIRA ENNYIRIRI N’EMITUBA MU MASIGA AMALALA EKKUMI N’ASATU Ennyiriri n’emituba mu masiga amalangira 1. ESSIGA LYA SSERUNKUUMA E MPAMI, MAWOKOTA EMITUBA:

2. Kanyolo, e Mayembegambogo e Kkonge, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Kisegu olwa sserunkuuma 1. Namunene, e Ggala,Mpigi, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Kabuto olwa Walaale, Busega, Kyaddondo 2. Ssekasamba, e Mpami, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Lyazi, Mawokota olwa Katuuladda, Mawokota 2 ESSIGA LYA LUWANGA E MPAMI, MAWOKOTA EMITUBA: 1. Kagulire mu Kikankano e Mpami, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Kabeere, Mawokota olwa Maswa Tibalirira, Mawokota olwa Ssemakaayi, Mawokota olwa Ngundu Mbuuka, Mawokota

2. Mpiima, mu Ggumba e Mpami, Mawokota

AMASIGA, EMITUBA N’ENNYIRIRI MU KIKA KY’ENDIGA Amasiga amalala nga bwe gaddiringana ENNYIRIRI N’EMITUBA MU MASIGA -

  Obubakattima Ennono Ebifaananyi Obutambi Okwewandiisa Ebifa ku Ndiga Ekitiibwa Kya Buganda  ENNONO, EBYAFAAYO N’ENKULAAKULANA Y’EKIKA KY’ENDIGA  Buganda. Nkonge Douglas Kiyinikibi™ Owoomutuba gwa Mpiima   ENNYIRIRI: olwa Ssejjuuko, Mawokota olwa Nnansambu, Mwokota olwa Mwotassubi, Mwokota 3. Kiyingi Ssemugooma, mu Kikankano e Mpami, Mawokota ENNYIRIRI: olwa .............(terwafunika) olwa Lule Buzingu, Mawokota ESSIGA LYA NAMUSOTA E MAZIBA, MAWOKOTA ESSIGA LYA SSEMITI E BUYANGA, MAWOKOTA 

 

Obubonero Bw’ekika Ky’endiga


Tusooke Na Busatu

Mu katundu kano tujja kukkaatiriza okusookera ddala ku muziro gwaffe, akabbiro, n’omubala ate n’oluvannyuma nga bwe tunaagenda mu maaso tulage obutaka bwaffe, n’amannya agatuumibwa mu Ndiga.

ENNONO Y’OMUZIRO GWAFFE OGW’ENDIGA

Nga bwe twayogera, Jjajjaffe Mbaale yayagala nnyo endiga era yatambulanga nayo buli we yabanga alaze . Olwensonga eyo, yasalawo endiga efuuke muganda we era muganda waffe, era nga mu kyo tetusobola kugirya, yadde okugikola akabi konna.

ENNONO Y’AKABBIRO KAFFE AK’EMPOLOGOMA

Kigambibwa nti okuva edda okuva edda n’edda lyonna nti empologoma terya ndiga. Era nga eno y’emu ku nsonga ekuumisa endiga mu lugo omuli ente. Empoloma tewagula lugo lwa nte lulimu ndiga. Mu kifo ky’okuwagula olugo, entalyamenvu efuka mazzi ku mboobo yaayo, ne mansira mu Lugo. Olw’okuba omusulo ogwo gusiiwa nnyo, olwo ente zitandika okugulumba n’okusattira nga zidduka ekibabu, n’okuwagula ne ziwagula. Ebweru w’olugo empologoma gyezisanga nezituga!

Empologoma obutalya ndiga, yafuuka muganda waffe kuba naffe tetulya ndiga. Kyetuva tugamba nti mu mpologoma mwe twebbulira oba nti empologoma ke kabbiro kaffe.

 

OMUBALA GW’ABALIGA

Okuva ku Ssekabaka Kyabaggu, omubala gw’Abendiga gwakyuka kinene ddala. Nga Ssekabaka Kyabaggu tanalya Buganda, omubala gwavuganga bwe guti:

“Nakateete, Kinobe, Ssekkoba alaze e Busaanga. Kinobe bw’atalifa alirya Obweya. Liri limu eridda e Busamba”.

 

Ssekabaka Kyabaggu bw’amala okutuula ku Nnamulondo n’akkalira, yaleeza eŋŋoma ey’okuwaana nnyina Nalugwa Nabbosa. Nga evuga nti:
“Nnyabo Nabbosa mpaawo alimuliisa Ndiga …….” Nga wayise ebyeeya n’ebisiibo, enziriŋŋana y’ebigambo by’omubala ogwo yakyuka ne guvuga nti:

 

“Mpa alimuliisa Ndiga, Nabbosa Nabbosa, mpaawo alimuliisa Ndiga”. Ate era ekiseera bwe kigenze kiyitawo ebigambo ne byongera okukyuka mu mubala wabula go amakulu nga tegakyuse nti: NABBOSA,, MPAAWO ALIMULIISA ENDIGA

 

AMAKULU G’OMUBALA GWAFFE

Amakulu agali mu mubala gwaffe ge gamu ddala naago Ssekabaka Kyabaggu kwe yasinziira okuleegesa eŋŋoma ewaana nnyina Nalugwa. Omubala gwaffe gututugeeza okwagala n’okuwa ekitiibwa kya bannyaffe. Guno gwe mubala gwokka mu bika byonna by’Abaganda ogukola ekyo era ne gulaga okwagala okwo eri bamaama. Abendiga, mutabani waffe ono Ssekabaka Kyabaggu yatulekera ekkula ery’emirembe gyonna.

Ekintu ekirala Ssekabaka Kyabaggu kye yaleka alaamidde buli Muliga, kwe kubanga n’omutima ogwagala ekika kyaffe, n’okukikolerenga entakera. Anti omubala gwe yatulekera gwa Kika kyonna. Sso tegwakoma ku Ssekabaka Kyabaggu yekka eyali Omuliga, mutabani waffe.

Kinaategeerebwa bulungi nti mu Buganda newankubadde waliwo ekika Ekirangira omugwa abalangira n’abambejja, emiziro gyo baba beddira gya bannyaabwe. Leka nsuubire nti wano omusomi wange yenna ateekawo enjawulo wakati w’omuziro n’ekika. Wano enjawulo bw’oba ng’ogifunye olwo nno kino kiba kitegeeza nti olulyo olulangira abalubeeramu babeera n’ebintu bibiri; omuziro ku ludda lwa maama n’ekika ku ludda lwa taata. n’ekika.

Mu Kika ky’Endiga, omukulu w’ekika owakasolya talina mubala gwa njawulo ku ogwo ogw’ekika. Ffenna abaana n’abazzukulu, wamu ne bajjajja tulina omubala gumu, ensonga eno etwonera obumu, kitole.

EMIRIMU EGIGENDA MU MAASO

Olukiiko lw’ekika kyaffe olwa Kasolya, lwe lukiiko olusuubirwa obutabulamu wa ssiga n’omu. Katikiro w’ekika alubaamu, omuwanika alutuulamu. Muwandiisi n’omubeezi we nabo balubaamu. Abenyiriri, abempya abennyumba, abaana n’abazzukkkulu n’abantu abalala mu biti byabwe bajjumbira olukiiko luno olwakasolya.

Abaganda tugamba nti Akiika e mbuga, amala ensonga. Mu ngeri eyo enkiiko mu kika nnazzikuno nga ziyamba nnyo abakiise okumanya ebifa e Mmengo era n’ebifa ku bukulembeze obubeera waggulu.

Mu nkiiko z’ebika ng’abantu bayambibwa okumanya ensonga ezikwata ku bantu abeekika okugeza; okufiirwa, okuboolagana, ennyimbe ez’okwaba, n’endala eziri mu kkowe eryo.

Okuyita mu nkiiko nga wabeerawo abeekika okumanyagana, okuyambagana, okwewa amagezi ku byenkulaakulana, entambuza y’amaka, okusala emisango, wamu n’ensonga endala.

Ensonga eyalemanga ku mutendera ogumu mu kika nga bagyongerayo ku mutendera oguddako okutuukira ddala ewa kabaka.
Tulina okwongera amaanyi mu nkiiko zaffe ez’ebika ate nga tutambula n’omulembe Omutebi nga bwe guli. Gamba, buli lwe tusisinkana tulina okutunula mu kusoomoozebwa kw’abantu naddala okubakulaakulanya mu byenfuna nga tebavudde ku nnono zaabwe.

Ebifa Ku Ndiga

Bannabyafaayo bangi bazze bawandiika ku ntandikwa bujjajja bw’Abaliga naye nga batandikira ku Mbaale, kino kireetedde bangi okwebuuza nti ye Mbaale ava wa? Bw’ogoba obuufu Muzzukulu wa Nnambi Bro.

Tarcis Nsobya (Munnakalooli) (2000), tolema kufuna kuddibwamu. Kubanga agamba nti endowoza nti Ssekabaka Kato Kintu ye kabaka wa Buganda omuberyeberye ku ye ssi ntuufu, wabula oluse oluberyebyerye lwe lwo olwa Ssekabaka Ttonda eyalamula ensi eno okuva nga mu mwaka ogwe 400 okutuusa nga mu gwe 420.