Uganda || Buganda
Nkonge Kiyinikibi (PhD)
Makerere Yunivasite
Uganda || Buganda
Eria Lwasi Buuzaabo
Makerere Yunivasite
Endagiriro y'Ekika
Ekika ky’Endiga kirimu amasiga kkumi na musanvu (17) nga ana ku go ge malangira omulondebwa balwomwa ate amalala ekkumi n’asatu geego omutalondebwa balwomwa
AMASIGA AMALANGIRA N’AGATALI MALANGIRA
Amasiga amalangira omulondebwa Balwomwa
1. Essiga lya Sserunkuuma, e Mpami, Mawokota
2. Essiga lya Luwanga e Mpami, Mawokota
3. Essiga lya Namusota e Maziba, Mawokota
4. Essiga lya Ssemiti e Buyanga, Mawokota
ESSIGA LYA SSEKKOBA E BUSANGA-KKOOME, KYAGGWE
EMITUBA:
1. Lutyabi e Ttuba, Busanga – Kkoome, Kyaggwe ENNYIRIRI: olwa Kiranzi, Kkoome, Kyaggwe olwa Ssebyala, Kkoome, Kyaggwe olwa Luyiiro, Kkoome, Kyaggwe olwa Mawaza, Kkoome,Kyaggwe olwa Mubuya, Kkoome, Kyaggwe olwa Bbosa, Kkoome, Kyaggwe Sseruwule, e Ttuba, Busanga – Kkoome, Kyaggwe ENNYIRIRI: olwa Kisamu, Kkoome, Kyaggwe olwa Kalugendo, Kkoome, Kyaggwe olwa Mubuya, Kkoome, Kyaggwe
2. Ssembuubi, e Ttuba Busanga – Kkoome, Kyaggwe ENNYIRIRI: olwa Mayanja, Kkoome, Kyaggwe olwa Ssekawere, Kkoome, Kyaggwe olwa Kiwaggu, Kkoome, Kyaggwe.
ESSIGA LYA NDALU E MPANGA-NAKABISO, MAWOKOTA
EMITUBA
1. Ssekubunga e Mpanga, Mawokota 2. Mbugayamunyolo e Mpanga, Mawokota 3. Sseggonja e Mpanga, Mawokota 4. Nkuusi, Waddudumu, Butambala 5. Ssentumbwe e Mpanga – Nakabiso, Mawokota 6. Magatto e Mpanga, Mawokota 7. Kyebanja e Mpanga, Mawokota 8. Kalumba, e Mpanga, Mawokota • Ennyiriri mu mituba gya Ndalu tezaafunika
ESSIGA LYA BUVI E BUNNAMWERI, MAWOKOTA
EMITUBA:
1. Kkulumba, ku Kkulumba e Mbaale, Mawokota OLUNYIRIRI: olwa Zibuuse, Mawokota 2. Kayina, e Bunnamweri ku lusozi Lwasi, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Bawalenkedde, Bulemeezi olwa Njuki e Kamunye, Busiro olwa Mavumirizi e Ssisa, Busiro 3. …………………, e………….…….(tegwafunika) OLUNYIRIRI: olwa Nsigalira, Mawokota 4. Nnanseera e Buseera, Kitavujja, Mbaale, Mawokota OLUNYIRIRI: olwa Kirevu, Mawokota 5. Munyweze, e Bunnamweri, e Mbaale, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Lumonde e Nabuttitti, Ssingo olwa Buddeddi e Kapeeka, Bulemeez
6. Bikonya e Bukakala, Mbaale, Mawokota ENNYIRIRI MU MUTUBA GUNO TEZAAFUNIKA 7. Kakala e Bukakala, Mbaale, Mawokota OLUNYIRIRI: olwa Bukulu e Ssango, Mawokota 8. Kituuma, e Mbaale, Mawokota ENNYIRIRI MU MUTUBA GUNO TEZAAFUNIBWA 9. Nakatandagira e Butandagira, Mbaale, Mawokota ENYIRIRI: olwa Ssekikongo, Mawokota olwa Ngabanzira, Mawokota
ESSIGA LYA SSEKASAMBA E BUSAMBA, MAWOKOTA
EMITUBA: 1. Luwalira e Kabinja, Buddo, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Ssemukulungwa, e Buddo, Busiro olwa Luwalira, e Buddo, Busiro 2. Namujulirwa e Buddo, Busiro ENNYIRIRI: olwa Baabumba Namujulirwa e Buddo, Busiro olwa Kibuuka Ssewakuka, e Kiyamba, Bulemeezi olwa Ssaabiiti e Nateete, Kyaddondo olwa Wasswa Bugembe, e Manja, Kiwangala, Buddo olwa Lwazi, e Kasaayi, Kyaggwe olwa Musisi e Sseguku, Kyaddondo 3. Masiki e Ddegeya, Mifuwe, Bulemeezi ENNYIRIRI: olwa Muganzi e Mifuuwe, Bulemezi olwa Babala e Nakafumu, Busiika, Bulemeezi olwa Ggotto e Kyampisi, Bugerere olwa Kalumba e Kikolo, Kyaddondo 4. Ggotto mu Kiweesa, Buddu
ENNYIRIRI:
olwa ……….., mu Kiweesa, Busiro olwa Kannyange e Buddu olwa Byanganga e Buddu oluli mu Kiweesa, Buddu terwafunibwa 5. Kiweresi e Bugaabo, Busiro ENNYIRIRI: olwa Muwanga e Buggomola, Buddu olwa Mititi e Bugomola, Buddu 6. Kalumba Njakasi e Kyayaye, Bugerere olwa Njakasi e Kyayaaye, Bugerere olwa Bbosa Kalevu, e Mpande, Bulemeezi olwa Ssekubunga e Kyayaaye, Begerere
ESSIGA LYA NAKABAALE E MMEMBE, MAWOKOTA
Essiga lya Nakabaale e Mmembe, Mawokota EMITUBA: 1. Ssettenda e Mmanvuzaggulu, Mawokota OLUNYIRIRI: olwa Kaweesa Mugambeka e Manvuzaggulu, Mawokota 2. Ssekkadde Ssejjemba e Lugogo, Mawokota ENNYIRIRI: olwa Mikisesangwa e Lugogo, Mawokota olwa Kikabi e Lugogo, Mawokota 3. Ddiba e Mmembe, Mawokota MU MUTUBA GUNO TEMULI LUNYIRIRI YADDE OLUGGYA OLUGUYINGIRAMU 4. Ssemajjamba OLUNYIRIRI: olwa Luyimbaazi Zaake e Kyambizzi, Mawokota.
ESSIGA LYA KIGULI E SSEENENE, MAWOKOTA
EMITUBA: 1. Ssekiwejjera Nkonge e Vvubula, Sseenene, Mawokota OLUNYIRIRI: olwa Nnyinikyalo e Vvubula 2. Kiyingi Takirambudde e Vvubula ENNYIRIRI: olwa Nabyete e Vvubula olwa Ntensibe e Vvubula 3. Bbosa Nziina ENNYIRIRI: olwa Nakulabye e Vvubula olwa Kyakula e Vvubula 4. Kalyesubula Kakobya ENNYIRIRI: olwa Bukulu e Vvubula olwa Baanabakintu e Vvubula
5. Kiyingi Kaboobo ENNYIRIRI: olwa Bakiranze e Vvubula olwa Baatuma e Vvubula
ESSIGA LYA SSEKAKONI E BUNNAMWERI, MAWOKOTA
EMITUBA: 1. Buyiggiso, e Bunnamweri, Mawokota 2. Kasooli, e Bunnamweri, Mawokota 3. Twase, e Bunnamweri, Mawokota 4. Nfuufu, e Buzindere, Mawokota 5. Ssewagudde, e Bunnamweri, Mawokota ENNYIRIRI MU SSIGA LINO TEZAAFUNIKA olwa Baatuma e Vvubula
ESSIGA LYA KAGGWE E BUKAGGWE-NAKABISO, MAWOKOTA
EMITUBA: 1. Ssemiti e Buyuki, Bulemeezi 2. Kimogofu e Bwetyaba, Butambala 3. Ssematengo e Tabazimu, Mawokota 4. Buggo e Kakoola, Mawokota 5. Kaddu – Kibuuka e Mpanga, Mawokota
ENNYIRIRI MU SSIGA LYA KAGGWE TESAAFUNIKA
ESSIGA LYA MPUNGU E BWEYA, BUTAMBALA -
EMITUBA 1. Nanfumba e Kasekere, Butambala 2. Kayemba e SSaka, Butambala 3. Luyirika e Kyannajjanja, Butambala 4. Katangaza e Butambala 5. Nakattampeewo e Bulugu, Butambala 6. Takana e Naganaga, Butambala 7. Katteete e Kyaggulwe, Butambala 8. Lwasamitala e Kasansala, Butambala.
9. Kakommo e Bweya, Butambala 10. Ssemugonde e Mabanda, Butambala
ENNYIRIRI MU MITUBA GY’ESSIGGA LYA MPUNGU TEGYAFUNIBWA
ESSIGA LYA LUTALO E BUYIJJA, MAWOKOTA -
EMITUBA 1. Ggubwa e Buyijja, Mawokota 2. Ssengoma e Buyijja, Mawokota 3. Kasozi e Buyijja, Mawokota
4. Luyimbalwamukadde e Buyijja, Mawokota 5. Sserululyabe Bwagu e Buyijja, Mawokota 6. Mpande e Buyijja,Mawokota 7. Kiryewala e Buyijja Mawokota 8. Luggya e Nnabbuzi, Mawokota 9. Wabala e Buyijja, Mawokota 10. Kasenge e Buyijja, Mawokota 11. Muliggo e Buyijja, Mawokota 12. Namalusu e Buyijja, Mawokota 13. Sseggonja e Buyijja, Mawokota 14. Kanakyuma e Buyijja, Mawokota 15. Kisomba e Buyijja, Mawokota 16. Waggala e Mulole, Maziba, Mawokota
ENNYIRIRI EZIRI MU SSIGA LYA LUTALO TEZAAFUNIBWA
ESSIGA LYA WAKIKUNGA E MUTUNGO-KITIKO, KYADDONDO. -
EMITUBA: 1. Ssemiti e Buyuki, Bulemeezi 1. Bbosa Ssaagalakuyomba e Mutungo-Kitiko, Kyaddondo OLUNYIRIRI: olwa Mawaza Sseruwule e Mutungo-Kitiko, Kyaddondo. 2. Tobaggwe e Mutungo – Kitiko, Kyaddondo OLUNYIRIRI: olwa Kiyingi e Bulyankuyege, Ssekanyonyi, Ssingo. 3. Kabine e Ssekanyonyi, Ssingo OLUNYIRIRI: olwa Kalyesubula Ssemuyere e Kasawo, Mut. VI Kyaggwe. 4. Ngagala e Nsangi, Busiro OLUNYIRIRI:
olwa Kaddu e Bunnamweri, Mbaale, Mawokota. 5. Ssoweera e Nabugondo, Kassanda, Ssingo OLUNYIRIRI: olwa Muteesa e Mityana, Ssingo
EESSIGA LYA NAKIYENJE E BUGIRI-KISUBI, BUSIRO -
EMITUBA: 1. Musoke Ntaata, e Bugiri, Busiro OLUNYIRIRI: olwa Kyobe Makumbi, e Kaabungo, Buddu. 2. Musoke Ddumba e Lubanyi, Kyaggwe OLUNYIRIRI: olwa Musoke Muwenda e Lubanyi, Kyaggwe. 3. Musoke Katte, e Bukomansimbi, Buddu OLUNYIRIRI: olwa Galuma Lumu e Gayaza, Kisaka 4. Musoke Kyomya e Kyakalinzi, Bigasa, Buddu OLUNYIRIRI: olwa Mayindi Nkoba e Kyakalinzi, Bigasa, Buddu 5. Musoke Ssebidde Masikangabo e Kisubi, Busiro OLUNYIRIRI: olwa Kiraza e Buyenje, Buddu
ESSIGA LYA KIBEEVU E SSI-BUKUNJA, KYAGGWE -

ESSIGA LYA KIBEEVU E SSI-BUKUNJA, KYAGGWE. -
EMITUBA: 1. Ssemponye e Bukunja, Ssaabagabo, Kyaggwe 2. Katosi e Nsanja, Ssaabagabo, Kyaggwe 3. Ggona e Bukaya, Ssaabagabo, Kyaggwe 4. Bbosa e Nsanja, Ssaabagabo, Kyaggwe 5. Musoke e Dima, Ssabagabo, Kyaggwe 6. Ssebuzi e Mugunga, Ssaabagabo, Kyaggwe 7. Kalega mu Mabira, Ssaabagabo, Kyaggwe ENNYIRIRI EZIRI MU KIBEEVU TEZAAFUNIBWA
JJAJJA MBAALE YANDIBA NGA YAVA MU SSEKABAKA TTONDA
Bannabyafaayo bangi bazze bawandiika ku ntandikwa bujjajja bw’Abaliga naye nga batandikira ku Mbaale, kino kireetedde bangi okwebuuza nti ye Mbaale ava wa? Bw’ogoba obuufu Muzzukulu wa Nnambi Bro. Tarcis Nsobya (Munnakalooli) (2000), tolema kufuna kuddibwamu. Kubanga agamba nti endowoza nti Ssekabaka Kato Kintu ye kabaka wa Buganda omuberyeberye ku ye ssi ntuufu, wabula oluse oluberyebyerye lwe lwo olwa Ssekabaka Ttonda eyalamula ensi eno okuva nga mu mwaka ogwe 400 okutuusa nga mu gwe 420. Oluse lwa Ssekabaka Ttonda lwalimu bakabaka 36 era lwakoma ku Kabaka Bbemba Musota eyalamula eggwanga lino okuva nga mu mwaka ogwo 1180 okutuusa nga mu 1200. Nsobya agamba nti Ttonda yatumibwa Lubaale Katonda okutondawo emirembe mu nsi Muwawa. Olubiri lwe lwali Busomba e Mbaale, Mawokota era nga yaziikibwa Ttonda mu Mawokota. Ttonda yasikirwa mutabani we Kabaka Ggulu eyalamula okuva mu gwe 420 okutuusa nga mu gwe 442. Erinnya Ggulu lyamutuumibwa okujjukira Lubaale Katonda eyasulanga mu Ggulu (mu lubaale). Ggulu yazaala abaana 22 nga mwe mwali Mbaale, oluvannyuma eyafuuka Kabaka ne Kagulu n’amusikira. Kabaka Mbaale yasima oluzzi lwe ku kasozi Sseenene n’alutuuma Kaduumya (linnya lya Ndiga nnyo) nga terusenwamu Munyoro. Kirowoozebwa nti nga mu mirembe gya Ssekabaka Nakibinge VIII mu luse lwa Kintu (1440-1490), oluzzi olwo lwali lukyaliwo kubanga mu kiseera ekyo Omunyoro n’Omuganda baali kabwa na ngo. Amasiro ge gaali Sseenene era nga agakuuma ye Kiguli ow’Endiga(Kiguli e Sseenene ye mukulu w’essiga lya Kiguli). Kigambibwa nti Ssekabaka Kagulu (442-463) ye yasikira kitaawe Ggulu era omulongo we ye Kayuki (linnya lya w’Akayozi). Kagulu yazaala abaana be kkumi na bataano (15)
Akuuma omulongo (Olulira lwa Kabaka) wa Kagulu ye Nasera ow’e Busera, wa Ndiga era ali Mbaale. Olubiri teyalukyusa, yaluleka Sseenene era yeeri n’amasiro ge
Kigambibwa nti waaliwo ku Ssekabaka Mbaale mutabani wa Ggulu era muto wa Kagulu eyafuga ensi muwawa okuva mu mwaka ogwe 468 okutuuka nga mu gwe 483. Mbaale yakuba olubiri lwe ku lusozi Kkulumba (linnya lya Ndiga), awo e Mbaale era awali ekiggwa n’ekiggya ky’ekika ky’Endiga. Omulongo wa Ssekabaka Mbaale ye Mpungu(ono naye mu Ndiga mutaka nnyo). Omukuumi w’omulongo ye Nnakatandagira ow’Endiga. Mbaale yawangaala nnyo nnyo n’obulamu ne bumutama. Amasiro ge gali ku lusozi Kkulumba. Ebyafaayo bino ebiriraanya Ttonda ku Mbaale ate ne ku bakabaka okutwalira awamu kizibu okugamba nti byasibagana busibaganyi. Noolwekyo Mbaale ono eyali kabaka y’alabika okuba Mbaale jjajja w’Abaliga.Kati tugambe tutya nti tuli Balangira na Bambejja? Nedda, Leka ensonga tugitereeze tutu:
Kinonoozebwa nti Ssekabaka Kato Kintu (1200-1230) ow’oluse lwa bakabaka olw’okubiri ebika bye yasangawo (omwali n’endiga) byali biteekeddwateekeddwa bulungi era nga byetwala nga obwakabaka obwetongodde okuva ku nju okutuuka ku kasolya
Ssekabaka Kintu olwokulengerera ewala ky’ava asalawo n’agatta ebika okuzimba ensi Buganda (ekiva mu muganda, ebintu ebisoobolokofu ebisibiddwa awamu) era kyova olaba nti OBUGANDA BIKA. Eyo ye nsonga lwaki bannabyafaayo basalawo okulondoola ensi Buganda n’ebika okuva ku Ssekabaka Kintu kubanga ensi Buganda eyeesigamiziddwa ku bika wetandikira. Ekiddako wansi kaakati kwe kutunuulira ebyafaayo bya Mbaale nga jjajja w’Abaliga mu nsi Buganda (eyeesigamye ku bika) okwawukanako n’ensi muwawa ey’omulembe gwa Ttonda (eteesigamye ku bika nga ebika ebimu munsi Muwawa nabyo nga byali byetwala bulungi nga obwakabaka obujjuvu, kye tuva tulaba nga ensengeka mu kika eringa bwakabaka obujjuvu nga tusangamu ne ba katikkiro)
ABALIGA TEBAVANGA BUMOGERA E MBAALE, BUGISU
Waliwo abagamba nti jjajja w’Abaliga ye Mutaka Ssekkoba eyava e Bumogera mu Kavirondo okuliraana Bukedi, nadda e Ssese ewa Wannema nga Kabaka Kayima (ow’e 17 mu Bassekabaka be Buganda) y’alamula. Yatuula ku mutala Busanga e Kkome ku nnyanja Nalubaale. Ku kizinga okwo kwe yazaalira mutabani we asooka Bbosa era n’amukuliza ku kizinga okwo. Waliwo abagamba nti jjajja w’Abaliga ye Mutaka Ssekkoba eyava e Bumogera mu Kavirondo okuliraana Bukedi, nadda e Ssese ewa Wannema nga Kabaka Kayima (ow’e 17 mu Bassekabaka be Buganda) y’alamula. Yatuula ku mutala Busanga e Kkome ku nnyanja Nalubaale. Ku kizinga okwo kwe yazaalira mutabani we asooka Bbosa era n’amukuliza ku kizinga okwo.
Bagamba nti ku Mutungo okwo kwe yazaalira omwana we Kalyesubula Kikonyogo. Kalyesubula bw’asikira kitaawe oluvannyuma, kwe kukulira ekika ky’Endiga kyonna, n’afuna n’erinnya Lwomwa. Okuva olwo erinnya eryo ne likala ku buli mukulu w’ekika ky’Endiga. Ensonga eyo yandibaamu omuzinzi kubanga mu kika ky’Endiga tusangamu essiga lya Wakikunga e Mutungo, Kyaddondo. Kalyesubula ye wuuyo owaffe gwe tumanyi era waliwo n’ensonga endala ezikwatagana mu bigambo ebyo, wewaawo gwaka nga musana kaakiro tabulamu. Tujja kutunuulira ku bigambo ebirala twongere okusengejjamu amazima.