Omuliga Fred Ssebatta: Muzzukulu wa Lwomwa ono tayimba aleruka.
Omuliga Lwomwa Eng. Bbosa Danieri: Ono ye Lwomwa, omusajja yinginiya omutendeke era nnannyini wa kampuni ya Transa & Bbosa Electricals. Wa ssiga lya Nnamusota e Maziba, Mawokota.
Omuliga Ssemukuutu Edward: Abadde katikkiro w’ekika okumala ekiseera. Musajja amanyi obulungi obuwangwa n’ennono era bw’atandika okubirombojja olabira ddala omusajja Omuganda atali mwangu kusanga mu biseera bino. Musajja muntumulamu nnyo.
Omuliga Kayigwa John Crisestomu Kiyingi: Abadde ssaabawandiisi w’ekika okumala ekiseera. Mwogezi wa ku mikolo kayingo era ava mu ssiga lya Luwanga, mu mutuba gw’enkulembera ogwa Mpiima, mu Lunyiriri lwa Nansambu mwensibuka.
Omuliga Dr. Andrew Kiyingi: Omulongoosa w’emitima omukenkufu ennyo eyo mu Australia. Yassibwako omusango gw’okutta mukyala we, wabula oluvannyuma n’aguvvuunuka. Yaddamu n’awasa omuwala omuyimbi era ensangi zino omusawo alabikira ne ku ntambi z’ennyimba ne mukyala we.
Omuliga Oweek. Kabuuza Mukasa: Omu ku baatandika ekibiina kya Baana ba Kintu, Minisita w’Entambula za Kabaka n’Okulanya.
Omuliga Nyonyintono Kikonyogo: Yaliko Govana wa Bbanka ya Uganda
Omuliga Dr. Suzan Kiguli : Alina PhD mu nnimi ne litulica era asomesa Makerere mu Yunivasite
Omuliga Ambasador James Kinobe: Yaliko Memba wa Palimenti e Katikamu, Minista ate munnamaggye. Wewaawo alina ensobi ze yakozesebwa ku nnyina Buganda, ng’awaana etteeka ly’ettaka kazaala bulwa.
Omuliga Prof. Lutalo Bbosa: Yali Vice-chancellor wa Kyambogo University, yali Ssentebe wa UNEB ate kati nga ye Ssenkulu wa Team Business College e Mengo nga ku Nkulungo ya Kabaka eya Nnantawetwa.
Omuliga Benon Luggya: Eyatandikawo Maganjo Grain Millers era nnannyini Midland College e Kawempe.
Omuliga Joyce Nakibuuka: Omu ku baddukanya kampuni ya Maganjo Grain Millers .
Omuliga Oweek. Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo: Meeya Lubaga Munisipaal era mukyala wa Eng. Ssebuggwawo taata omuto owa Maama wa Buganda Nnaabagereka Nagginda. Ekitegeeza nti Abaliga tuli ba maama ba Kabaka mu ngeri eyo.
Omuliga Mpungu Musa Kakomo: Akulira Masaka S.S. yatandikawo Mpigi Mixed S.S era yatumbula nnyo essomero lya Bulo Parents S.S mu Buambala, mukyala wange gye yasomera era eryo nga lye ssaza gye bamuzaala.
Omuliga Christopher Kalyesubula: Akulira Lubiri Nabagereka Primary School.Muwandiisi mu kika.Ava mu ssiga lya Kiguli e Sseenene era mutabani w’Omutaka Kiguli Kiyingi akulira essiga lya Kiguli.Omwami ono ayagala nnyo ekika kye era ategeera nnyo ebyobukulembeze naddala mu masomero.
Omuliga Wycliff Kiyingi: Munnakatemba ela Omuwandiisi w’ebitabo omuli Lozio Bba Ssesiria, Gwosussa Emmwaanyi.
Omuliga Ezekiel Luggya Lwasi: Yatandikawo Internal Institue of Business and Media Studies, yawandiika ekitabo ky’okwanjula.
Hon Asuman Kiyingi: Mukiise mu lukiiko lw’ggwanga mu Busoga
Oweek. Kaddu Sserunkuuma: Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda
Oweek. Sheik Ali Kulumba: eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda n’afiira ku mulimu ku myaka egisoba 80 ng’alinawo n’obusaba amata.
Omuliga Hon. Kiyingi Deo: Mukiise we Bukomansimbi mu Palimenti era ye mwami wa Oweek Florence Nakiwala Kiyingi
Omuliga Hon. Kafumbe Mukasa: Yaliko minisita w’ebyensimbi. Omuliga Aisha Nakiguli: Akulira Nabisunsa Girls’ School
Omuliga Dr. Sarah Nkonge: Alina PhD mu byenjigiriza, alina amasomero agawera omuli Kampala SS, era yaliko omumyuka wa meeya wa Kampala
Omuliga Oweek. Lule Sserunkuuma : eyali Ssaabalamuzi wa Buganda
Omuliga Bishop Dr. Balagadde Ssekkadde: Eyali Bishop we Namirembe.Musajja muyivu ddala era alina diguli ssatu be ddu.
Omuliga P. Kiyingi Bbosa: Munnamawulile wa Radio Kaboozi ku bbiri.Omusajja ono ayagala nnyo ekika kye ne Buganda.
Omuliga Bbosa Sserunkuuma: Muzannyi wa filimu omututumufu azannyira ku ttivvi n ya Bukedde mu muzannyo gwabwe omuganzi ogwa Zubayiri era ng’azanny nga Zubayiri.
Omuliga Wasswa Kiyingi: Muyimbi wa nnyimba za ddiini nga Mukama Jangu ombeere n’endala.
Omuliga Alice Nabatta: Mwannyina wa Fred Ssebatta.Omukyala ono wa kadongokamu.
Omuliga Kalyesubula: Omupiira agukyangira mu ttiimu ta ggwanga.
Omuliga Sserunkuuma: Omupiira agukyangira mu ttiimu ta ggwanga.
Omuliga Kiyingi John: Muyimbi wa nnyimba za ddiini nga Singa Teyali Oyo, n’endala.
Omuliga Lumu David: Muyimbi wa nnyimba za ddiini nga Ekintambuza Empola, n’endala.
Omuliga Lutalo David:Muyimbi wa maanyi ddala era alina ennyimba nga Kapaapaala, Yamba, Engumba Zaange, n’endala.
Omuliga Kiyingi: Eyaakafa ng’abadde muzannyi wa katemba mu Amalula ne mu IMAGINE
Omuliga Hajjat Hadijah Kinobe : Munnamawulile wa C.B.S Omuliga Paulo Bbosa , mutabani wa A.Bbosa era muzzukulu wa Pawulo Banadda Kiyingi.Bbosa ono musajja mukozi nnyo mu kampuni ya Uganda Cares ebudaabuda abalwadde ba mukenenya.Abeera Buziga mu Kyaddondo era ayagala nnyo ekika kye.
Omuliga Naluggwa Hatima Ssekaaya : Munnamawulire wa N.T.V
Nakiguli Christine:Muwala wa Damasco Kaggulire e Kyaliwajjala.Omukyala ono mukozi nnyo mu Yunivasite ye Kyambogo era ayagala nnyo ekika kye.Alina ebbaluwa ya PITMAN Mu buwandiisi
Omuliga Hon. Moses Ssemyano Kiyingi : yazaalibwa 1926 n’afa 1992 yasomera Buddo, Belham ne Tooting College e London.Mu1963 yali permanent secretary mu Minisitule ekola ku nsonga z’ebweru.Mu1966 yali directa wa IMF. Mu1973-1977 Minisita we’byenfuna.Mu1983 Ssentebe wa PTA eyasooka. Mu1989 Mukiise we Nakaseke mu NRC
Omuliga Efulansi Miriamu Lwalamukwano Musoke: yazaalibwa 16 – 03-1931, n’asomera Mengo Girls School. Aweerezza nnyo ekkanisa ya Lutikko e Namirembe nga omukebezi, asomesa n’abagole. Munna –Mothers’ Union
Omuliga Ssaalongo Douglas Nkonge Kaweesa e Bulamu: Yazaalibwa 1921 n’afa 1994, yasomera e Makerere, Namungoona ne Nkwanga mu Bugangazzi.Yatumbula essomero ly’e Kampiringisa eritebenkeza abaana mu mbeera ez’obuntubulamu .Yali musuubuzi e Wandegeya, n’e Bulamu ku lwe Mityana.Yali musajja mmekete era yazaala abaana abasoba mu 30 omuli n’abalongo emigogo ena.Nga bwe bagamba nti ‘Ekkerenda, liva ku lubaya’ ono ye taata wa Nkonge Douglas Kiyinikibi, akuwandiikira ebigambo bino.Wummula mirembe Taata.
Omuliga Omuzira Paulo Kikwanguyira Kiyingi Banadda: Yazaalibwa 1896 nafa 1968. Mutabani wa Samwiri Lwasi Buzaabo, ova mu ssiga lya Luwanga, mu mutuba gwa Mpiima mu lunyiriri lwa Nansambu. Yasomera Ndejje Junior school.Yayingira Kings’ College Budo. Yeegatta ku ssematalo eyazooka (1914-1918). Mu 1931 yeegatta ku Makerere Technical College. Yakulirako abakozi Abaddugavu mu Gavument ya Resident Buganda (Chief Native Administrative Secretary).
Yali muwi wa magezi owekyama owa Ssekabaka Daudi Chwa ll. Yawangangusibwa wamu ne banne mu bitundu bye Moroto ne Kitgum n’okusibwa e Luzira entakera nga bawakanya omuzungu okugezaako okubba ettaka (mailo 9000) n’okujolonga obwakabaka. Yali Ssaabawandiisi w’ekika ky’endiga 1937-1945.
Yali ssentebe w’olukiiko lw’ekika olwatuulanga mu maka ge e Makerere omulundi gumu mu mwezi enkola eno egenda mu maaso naguno gujwa ku nnyanja ya Ssaabalongo e Mengo buli lwamukaaga olusooka mu mwezi.Ye ne Yosefu Sserunkuuma Nkalubo, Tito Kyobe Ziryawulawo ne Erenesiti Kibuuka baagula ettaka ku nnyanja eyo awatudde woofiisi y’ekika. Yatereeza ennono, ensikirano, obulombolombo, n’ebyobuwangwa bw’ekika ky’endiga.
Muzzukulu wa Lwomwa ono yalina entomo etayogerekeka, omuzzanganda, mwoyogwaggwanga yennyini, kagezimunnyo, puliida w’omuntu w’abulijjo, kyokka omuntu ateekulembezanga era Dr. Ssekkadde ky’ava yamuwandiikako nga ‘Omuzira ataayatiikirira’
Omuliga David Buzaabo Kalumba Kiyingi:
Yazaalibwa 09-11-196. Mutabani wa Paulo Kikwanguyira Kiyingi Banadda era omusika we, ava mu ssiga lya Luwanga, mutuba gwa Mpiima olunyiriri lwa Nansambu. Yasomera mu Aggrey Memorial School.Yaliko kkalaani mu kitongole kya Gavumenti kyettaka.Yaliko omumyuka w’omuwandiisi w’byapa by’ettaka (Assistant Registrar of Titles). Yeegatta ku Bbanguliro ly’amateeka (LDC).Mu 1974 yeesogga Makerere University okusom diguli mu mateeka.
Yeegattta nate ku Bbanguliro ly’amateeka (LDC) okufuna ebbaluwa eyawaggulu emukkiriza okuwoza emisango mu kkooti. Mu 1978 yafuulibwa omuwandiisi w’ebyapa by’ettaka. Mu 1981 yeegatta ku Mugerwa & Matovu Co. Advocates.Yatandikawo Kulumba – Kiyingi & Co. Advocates.
Muzzukulu wa Lwomwa ono ku nsonga z’ettaka akwata ekifo kya kumwanjo nnyo kyokka ggwe akaayiirwa amazima tomwesembereza.Ye bba w’omugenzi Harriet Nakazaana Kiyingi eyali RDC w’eMubende, Muwala wa Erisa Musoke e Kyebando.
Omuliga Dr Dr Balubuuliza Kibuuka Kiingi:
Yazaalibwa 10-10-1944. Mutabani wa Paulo Kikwanguyira kiyingi Banadda ava mu siga lya Luwnaga mu mutuba gwa Mpiima mu lunyiriri lwa Nansambu. Yasomera Kisubi ne Makerere College. Yafuna diguli esooka mu bwa Yinginiya, Ing. (grad) Heilbronn, German.Okuva 1979 ne B.A. (London), M.A. (Bonn) mu 1989 n’afuna diguli eyookusatu eya Dr. Phil.(Blelefeld. Mu 1998 yafuna PhD eya waggulu eya D.litt okuva mu Kinyatta University).1971 – 1975 yasomesa mu UgandaTechnical College, Kyambogo. Yawandiika ekitabo Enkuluze y’Oluganda ey’e Makerer nga n’omu ku bayambi be mu kuwandiika ekitabo kino naye muzzukulu wa Lwomwa, Nkonge Douglas Kiyinikibi akuwandiikira bino.
Yayamba mu kuwandiika enkuluze mu nnimi endala nga Olucooli, Olusoga, Runyoro utooro ne Runyankole – Rukiga ng’ali mu Makerere University nga omugunjuzi.Yasomesa mu zimu ku Yunivatite ze Kenya enkulu nga Nairobi, Kenyatta ne Moi University. Alafubana okutuusa oluganda ku ddaala eryasanguza sayansi era emirimu gye egy’ebyewuunyo gisangibwa ku www.luganda.com
Muzzukulu wa Lwomwa ono yatamiira by’amagezi na lulimi lwe. Ate mu Uganda wano bwe wabaawo amuwa omukono mu buyigirize, tetunnamulaba. Musajja mufumbo era alina abaana babiri Banadda Kiyingi, asogola omwonge mu Nile Breweries ne Naluggya
Omuliga Dr. Kikuttoobudde Ssekkadde Kiyingi:
Yazaalibwa 8-08-1951, mutabani wa Paulo Kikwanguyira Kiyingi Banadda ava mu lunyiriri lwa Nansambu. Yasomera Kings College Buddo era yasoma PhD mu kutabula eddagala okuva mu Universisty ye Sidney, mu 1985. Yaliko ssentebe wa (PAA) Pan African Association 1989 / 1990. Fellow wa Royal Australian College of General Practitioners (FRACGP). Anoonyerezza nnyo ku bulwadde bwa asima n’enzijanjaba yaabwo. Mu 1975 yayambako MB Nsimbi nga yejjukanya ekitabo kye ‘Amannya Amaganda n’ennono zaago’. Mu 2002 yawandiika ekitabo ‘Olulyo lwa Kiyingi omuzira Ataayatuukirira’. Muzzukulu wa Lwomwa ono omukugu ayagala nnyo ebyobuwangwa bw’eggwanga lye Buganda, anyumirwa nnyo naddala ennyimba ennansi, ebivuga n’ennyambala eyaffe ey’edda, ekintu ekitali kyangu kusanga ku bantu bayivu nga ye,. Musajja mufumbo era alina abaana 4: Kulumba Kivebulaaya (Munnamateeka mu Australia, Nabbosa Makula (Omusawo omutendeke), Sam Lutalo ne mwannyina omulala.
Omuliga Dr. Samuel Kigwira Kiyingi Lutalo: Yazaalibwa 03-0901946 yasomera Kings’ College Buddo. Yafuna diguli y’obusawo (MBChB) okuva mu Makerere University mu 1973. Mu 1978, yafuna diguli ey’okubiri (Master of Medicine). Yakolera mu Royal London Hospital mu 1982. Yaliko omukulu wa Gweru Hospital, Zimbabwe. Yasomesaako mu University of Zimbabwe Medical School. Musajja ayagala ennyo ekika kye era mufumbo alina abaana abawala bana.
Omuliga omugenzi Ssalongo Kati Sserunkuuma, e Kitavujja Mbaale Mawokota , mu ddaame lye, yaleka awadde Ekika kye Ndiga yika ze ttaka biri(2) ku butaka e Mbaale. Weebale nnyo taata ettaka batono abaligaba, ekiraga nti wayagala nnyo ekika kyo.
Omuliga Omugenzi Yosefu Sserunkuuma Nkalubo owe Kamuli: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.
Omuliga Omugenzi Erenesiti Kibuuka owe Kabowa: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.
Omuliga Omugenzi Yosefu Sserunkuuma Nkalubo owe Kamuli: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.
Omuliga Omugenzi Erenesiti Kibuuka owe Kabowa: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.
Omuliga Omugenzi Kyobe Tito Ziritwawula owe Wampeewo: Y’omu ku bataka abana abaateesa era ne bagula ekibanja ky’ettaka mu Kibuga e Mmengo okuzimbawo ekkakkalabizo ly’ekika ky’Endiga, awo ku lubalama lw’ennyanja ya Kabaka e Mmengo.
Omuliga Omugenzi Nalunkuuma Kyagulanyi: Maama w’omuyimbi omututumufu Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine. Omuliga Betty Nakibuuka: muyimbi wa nnyimba za ddiini ya christo omututumufu. Alina ennyimba nga; Munene munene, Tukutendereze Yesu, n’endala nnyingi era ye nnyina w’omuyimbi omuto Baby Gloria.
Omuliga Dr. Kiguli: Akulira Uganda Radiologist Association mu Yuganda.
Omuliga Gorreti Naluggya: Muyimbi, oluusi yeeyita Looya w’abakyala. Omukyala ono mulema, kyokka mukakaalukanyi nnyo.
Omuliga Nalunkuuma Nsereko: mukyala wa munnamawulire era munnakatemba omututufu owa musajja wa kabaka Nsereko akolera ku CBS.
Omuliga Kelvin Kizito Kiyingi: Omumyuka w’omwogezi wa Bbanka ya Yuganda
Omuliga Lutalo Mohammad:yawangula omudaali gwa bronzi mu mizannyo gya Olympics egyali mu Bungereza mu Augusito, 2012.
Omuliga Sam Lutalo: Ye yasooka okufuna diguli ya PhD ey’abantu abatayogera era nga tebawulira. Yaiggya mu Univasite ye Lancaster.
Omuliga Esita Muleme Nabbosa. Mukyala munnabyanjigiriza nnyo. Yasomera Gayaaza n’asomesa e Kampala Mukadde okumala ebbanga. Alina essomero ly’abaana erya Joy Infant School e Mganjo. Obusomesa agenda kubuwezaamu emya ataano nga tutuuse mu 2014.
Omuliga Joseph Bbosa: Munnabyabufuzi omugundiivu era nga ye ssaabawandiisi wa UPC, ekibiina ekikyasinze okukyayibwa wano mu Buganda olw’ebisaga bye kyatuusa ku Buganda mu bukulembeze bwa kawenkene erinnya lye nga saagala kuliwandiika mu kitabo kino.
Omuliga Samuel Kaggulire e Namasinda. Yali musajja mufunyi ddala, ayagala ennyo eggwanga lye era nga ye yali akulembera omutuba gwa Mpiima gwe nnasikira.Omukulu ono ne kitange be baana ba jjajjange Danieri Kiguli Kijojje agalamidde e Kyabbumba mu Busiro. Ye nno engeri gy’ataazaala mwana mulenzi, nze akuwandiikira nnalina okusikira omutuba, anti emirimu gino gye tukola gya nsikirano.